Ekibiina kya NUP mu butongole kirangiridde obukulembeze bwa Parliamenti ku ludda oluvuganya government oluvanyuma lw’obukulembeze obw’emyaka ebiri n’ekitundu okugwako.
Ekibiina kirangiridde Joel Ssenyonyi ng’akulira oludda oluvuganya government mu parliament, azze mu bigere byo Owek Mathias Mpuuga Nsamba era omubaka wa Nyendo – Mukungwe.
Abadde akulira oludda oluvuganya government Owek. Mathias Mpuuga Nsamba agambye nti teyejjusa kuyingira kibiina kya NUP era obukulu obulala obumuweeredwa nga kamisona wa parliament agenda kubukola bulungi.
Asuubizza okuyambako Joel Ssennyonyi ng’omukulembeze omuggya ow’oludda oluvuganya government.
Joel Ssenyonyi aweredwa okukulira oludda oluvuganya government yebazizza Owek Mathias Mpuuga olw’okukulemberamu n’okubeera omusomesa omulungi eri ababaka bonna.
Joel Ssenyonyi ye mubaka we Nakawa west era yabadde ssentebe w’akakiiko akalondoola emirimu gy’ebitongole bya government.
Ba minister b’oludda oluvuganya government mu parliament;
. Johnbaptist Nambeshe Nampala wa NUP mu parliament
.Mathias Mpuuga Commissioner wa parliament
.Joel Ssenyonyi akulira oludda oluvuganya government mu parliament
. Kayemba Solo wa bya mizannyo
.Mugabi Suzan wa bulunzi na buvubi
. Santa Okot special regions
.Lucy Akello wa nsonga za East Africa
. Hellen Nakimuli wa bya mpuliziganya n’okulwanyisa obulyake
.Christine Kaaya wa bya mazzi n’obutonde bw’ensi
. Malende Shamim wa nsonga za ddembe ly’obuntu
. Betty Ethel Naluyima ne Abubaker Kawalya ba government ez’ebitundu
.Anna Adeke nsonga z’abakozi
. Francis Zzaake Butebi wa nsonga za president
. Ssewungu Gonzaga wa byanjigiriza
.Masaba Karim wa byakwerinda
. Betty Nambooze wa nsonga zomunda mu ggwanga
. Nsubuga Balimwezo wa nsonga za Kampala
.Ssemakula Lutamaguzi wa ttaka
.Hon. Kanyike avunaanyizibwa ku by’obugagga ebyomuttaka
.Denis Nyeko wa bulambuzi
.Semujju Nganda wa kuteekateeka n’enkulaakulana
. Abed Bwanika & Grace Baagala Ntwatwa bakola ku bisuubizo bya government
.Medard Sseggona amyukibwa Allan Mayanja Ssebunya bakulira kakiiko ka COSASE.