President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa aweerezza ba minister be okukiika embuga mu Bulange e Mengo, nga 07 July,2026, mu nteekateeka egenderera okussaawo empuliziganya ey’omuggundu eneesitula enkulaakulana mu bantu.
Government ekkaatirizza nti yakunyweeza enkolagana yaayo n’Obwakabaka bwa Buganda, nga ekwasizaako abantu ba Kabaka okukulaakulana.
Ensonga ezigenda okussibwaako essira mu nkolagana eno kuliko okusitula Ebyenjigiriza, eby’obulamu, Ebyobulimi n’enkulaakulana y’Abantu okutwaliza awamu.
Bwabadde akulembeddemu ba minister mu gavumenti abakiise Embuga, ku kiragiro by’Omukulembeze w’Eggwanga Gen Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa, Omumyuuka w’Omukulembeze wÉggwanga Rtd Maj Jessica Alupo,agambye nti president mwetegefu okusisinkana Abaami bÁmasaza ga Buganda bonna, babeeko ebikkaanyizibwako nga byankulaakulana.
Alupo yebazizza nnyo Obwakabaka olwa kaweefube gwebutadde mu kukyusa embeera zÁbantu nga bayita mu kulima Emmwaanyi nÓkulunda.
Rtd.Maj Jessica Alupo mu ngeri eyenjawulo agambye nti ebimu ku bisuubizo government byeyali yasuubiza Buganda bigenda kukwatibwako, nga muno mulimu okuzimba ekifo ku ssettendekero wa Buganda owa Muteesa Royal University abayizi mwebanasomera ng’ebitabo n’ensonga endala nyinji.
Ku lulwe omumyuka wa president yebazizza Obwakabaka okukyaza abantu b’ebiti ebyenjawulo mu Bulange e Mengo, mu ngeri ey’ekitiibwa.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye Omukulembeze wÉggwanga okusooka amegguze Obulyaake n’obukenuzi Obufumbekedde mu government eya wakati, bwagambye nti buziiηamizza nnyo enkulaakulana yÁbantu n’Eggwanga lyonna.
Katikkiro era asabye government esalire Amagezi Enguudo eziri mu mbeera embi ennyo mu Kibuga Kampala nÉbitundu ebiriranyeewo, kikendeeze ku bulippagano bw’Ebidduka.
Mu ngeri eyenjawulo asabye abakungu mu government batandike okulowooza ku kukulaakulanya n’okukozesa Entambula yÓlukale nga bweguli mu mawanga agaakula, baleme kulinda bugombe, kikendeeze omujjuzo mu kibuga.

Minister wÉnsonga zÓbwapresident Milly Babirye Babalanda , yebazizza Katikkiro nÓlukiiko lwa Buganda lwonna, olwokwagazisa Abantu ba Buganda okwerwanako nebakola.
Minister omubeezi owÓbuvubi era nga ye ssentebe wÁkabondo kÁbabaka mu Buganda Robert Migadde Ndugwa, agambye mumativu nti Okukyuusa embeera z’Abantu ba Uganda tekulina kusosola mu bibiina byabufuzi.
Ensisinkano eno yetabiddwamu ba minister okuva mu government eya wakati ne ba minisita mu gavumenti eye Mengo.#
Bisakiddwa: Kato Denis













