Uganda yatunze emmwanyi ku katale k’ensi yonna eziweza trillion za Uganda 8 n’obuwumbi 300 mu myezi 12 egiyise, okuva mu mwezi gwa June 2025 okutuuka mu May 2026.
Alipoota ya ministry y’ebyobulimi, obulimi n’obuvubi ekwata ku kirime ky’emmwaanyi, eraze nti ensawo z’emmwanyi eza kilo 60 eziweza obukadde 8 n’emitwalo 60 zezaatundibwa Uganda ku katale k’ensi yonna wakati w’omwezi gwa June 2025 ne May 2026.
Emmwanyi ezaatundibwa n’ensimbi ezaavaamu zeeyongera n’ebitundu 16% okugeraageranya n’emmanyi ensawo eza kilo 60, eziweza obukadde 7 n’emitwalo 400 ezaatundibwa wakati w’omwezi gwa June 2024 ne May 2025 ezavaamu trillion 7 nobuwumbi 700.
Wabula yadde wabaddewo okweyongera mu mwaanyi ezaatundibwa emyezi 12 egiyise, zzo emmwanyi ezaatundibwa mu May,2026 ebbeeyi yaazo yali wansi, olw’emmwanyi empitirivu eziva mu ggwanga lya Brazil.
Government ya Uganda erina ekiruubirirwa ,ekyokulaba nti eggwanga lisobola okutunda ensawo z’emmwanyi eza kilo 60 eziwera obukadde obusoba mu 20 buli mwaka ku katale k’ensi yonna omwaka 2030 wegunaatukira.
Obwakabaka bwa Buganda nga buyita mu nteekateeka ya Mmwanyi Terimba buyambyeeko nnyo okukubiriza abantu ba Kabaka okulima emmwanyi mu bungi, okuzirabirira n’okunyweza omutindo gwazo mu nnimiro, mukwanika n’okuzitereka.











