Club ya KCCA FC egucangira mu Uganda Premier League alangiridde nti emalirizza okukaansa omuwuwuttanyi Yunus Sibira okuva mu club ya Kitara, okwongera okuggumiza ttiimu eno okuvuganya obulungi season ejja eya 2026/27.
Yunus Sibira aguliddwa okuziba eddibu ly’abazannyi Joel Sserunjogi ne Brian Jjara abaayabulidde club eno nebanoonya ekibanja ewalala.
Yunus Sibira alina obumanyirivu nga azannyiddeko club endala okuli Busoga United, BUL, Buhimba United, Gaddafi ne Mbarara City.
Yazannyirako club ya Royal Leopards munsi eya Eswatin mu 2019.
KCCA kati awezezza omuwendo gw’abazannyi 4 KCCA be yakagula mu kwetegekera season empya, nga abasoose ye Elvis Ngonde, Charles Lwanga ne Maxwell Owachgiu.













