Obwakabaka bwa Buganda okuyita mu Radio Cbs butongozza Ekyeggulo kya Kaliisoliiso eky’omwaka 2026, okwongera okusonda ensimbi okumaliriza okuzimbe ekifo ewajjanjabirwa abagudde ku bubenje mu Ddwaliro e Nkozi.
Kaliisoliiso Dinner yakubaawo nga 11 September,2026 ku hotel Africana mu Kampala.
Omukolo gw’okutongoza Kaliisoliiso Dinner guyindidde ku ddwaliro e Nkozo mu ssaza Mawokota.
Omumyuka Owokubiri owa Katikkiro wa Buganda era Omuwanika w’Obwakabaka Owekitiibwa Rotarian Robert Waggwa Nsibirwa yaatongozza enteekateeka eno.
Owek.Waggwa agambye nti Ssabasajja Kabaka alina ekigendererwa ekigazi eky’okutuusa obujjanjabi obulungi ku bantu, kwekusaba abantu ba Buganda ne uganda okufaayo okulwanyisa obubenje mu ggwanga ng’emu ku nteekateeka eno.
Mu mbeera yeemu Owek Robert Waggwa Nsibirwa asabye abantu bonna buli omu okubaako kyatoola okudduukirira omulimu guno.
Ssaabasumba w’esazza ekkulu Kampala Paul Ssemogerere ategezeezza nti Uganda yeemu mawanga mu Africa agasingamu Obubenje , kwekulabula bannauganda okuba abegendereza nga bakozesa enguudo.
Agambye nti obutassa kitiibwa mu nkozesa y’enguudo, n’okugayaalirira ebidduka nti bye bimu ku bireeta obubenje.
Mu ngeri eyenjawulo Ssabasumba yebazizza Radio CBS n’Obwakabaka okutwaliza awamu olw’amaanyi gebatadde mu Kuzimba ekifo awatuukira abagudde ku bubenje ku Ddwaliro e Nkozi.
Ssenkulu wa Cbs Omukungu Micheal Kawooya Mwebe ategezeezza nti CBS mumyaka 30 ng’eweereza Obuganda n’ensi yonna yenyumiriza mu kukyuusa obulamu bw’abantu okuyita mu byobulamu , ebyenjigiriza n’enkulakulaana eyenjawulo.
Omuk.Micheal Kawooya Mwebe agamba nti CBS ng’ekolagana ne bannamikago yakulwana masajja okuggusa omulimu gweyatandika
MTN Uganda esuubizza okuwaayo ensimbi obukadde 100, ne Centenary banko obukadde 100, Rotary yakugula ebyuma byonna ebyetaagisa mu ddwaliro eryo bwerinaaba liwedde okuzimbibwa.
Kampuni n’ebibiina bya Rotary ebyenjawulo bisuuubizza okugula Emmeeza okwetaba ku kyeggulo kya Kaliisoliiso nga 11 September,2026 ku hotel Africana.
Akulira eddwaliro lye Nkozi, Dr. Cresent Tumuhaise ategezeezza nti mu kiseera kino basanga okusoomozebwa olw’omuwendo gw’abantu abagwa ku bubenje ogweyongera kyokka ng’ebikozesebwa bitono.
MTN esuubizza okuwaayo obukadde 100, saako MTN ettabi ly’e Masaka lyerisoose okussa sente ku code etongozeddwa *165*4*4# buli alina kyalona akiweereze tuzimbe Nkozi Hospital Accident and Trauma Centre
Mildred Nsinda Kasirye, avunanyizibwa ku kutunda MTN mu bantu, era nga be bamu kubavujjirizi ku mulimu gw’okuzimba ekifo kino agambye nti bakwongera okukunga bannauganda okuwagira okulwanyisa obubenje.
Beatrice Lugalambi ng’ayanjula obukadde 100 eziweereddwayo Centenary mu 2026
Beatrice Lugalambi, kulwa Ssenkulu wa Centenary Bank Godfrey Byakwaso yeyamye nti bakuwagira omulimu gw’okuzimba ekifo kino okutuusa okuggwa.
BannaRotary babaddewo mu bungi nga bakulembeddwamu Dr.Jane Kabugo
Dr. Kabugo Jane nga yaakikiridde Ssenkulu wa Rotary mu Uganda, agambye nti Rotary yakuteeka ebyuma byonna ebikozesebwa mu ddwaliro nga liwedde, era baguze emeeza eziwera mu kyeggulo kya Kaliisoliiso.
Ng’emikolo giwedde wabadde omupiira wakati w’abakozi ba CBS n’abasawo ba Nkozi Hospital, era nga gugeenze okuggwa nga tewali aleengedde katimba munne.
N’abakozi ba MTN nabo bazannye omupiira ogw’omukwano n’abatuuze be Nkozi nabo tewali ateebye.