Olukiiko lwa National Executive committee olwekibiina kyebyobufuzi ekya JEEMA,wongezaayo ekisanja kyabakulembeze b’ekibiina kino okuva ku byalo okutuuka ku offiisi yobwa president bw’ekibiina emyaka emirala esatu, olw’okubulwa ensimbi eziteekateeka ttabamiruka okulonda abakulembeze abaggya.
Olukiiko luno olwa National Executive committee luno, era okwongezaayo ekisanja kyabakulembeze bekibiina lwesigamye ku kusaba okwakoleddwa akakiiko akenjawulo akaakwasibwa eddimu ly’okukulola ennoongosereza mu ssemateeka w’ekibiina okubaako ebiterezebwa, lwasabye okwongerwayo emyezi emirala 6 nti ekiseera kyerwaweebwa kyali tekimala.
Ekisanja ekyongezeddwayo emyaka 3 kyakugwako mu mwaka gwa 2028.
Saaabawandiisi wa JEEMA Hajji Mohammed Kateregga agambye nti ensisinkano yaba memba ba National Executive committee yatunudde mu nsonga zino, neeraba nti ekibiina tekisobola kuteekateeka kulonda, kwekusalawo okwongezaayo ekisanja kyabakulembeze bonna okwetoloola eggwanga lyonna, okumala ebbanga lya myaka 3, nga gigwako mu 2028..#