Japan edduukiridde Uganda n’obuyambi bw’ensimbi za Ddoola za America obukadde mukaaga (6) zikozesebwe okulwanyisa enjala mu bbendobendo ly’e Karamoja.
Minisiter w’ebyensimbi Matia Kasaija y’atadde omukono ku kiwandiiko ekikwata ku buyambi buno ku lwa government ya Uganda, olwo omubaka wa Japan mu Uganda Fukuzawa Hidemoto n’ateekako ku lwa Japan.
Ssaabaminisita wa Uganda Robina Nnabbanja naye abaddewo.
Obuyambi buno bugenderera okuyamba district za Karamoja 9 nga babagulira ebijimusa ebituufu n’ebirala ebikozesebwa mu by’obulimi.
Minisita Kasaija asuubizza nti obuyambi buno bwakukozesebwa bulungi okutuukiriza ekigendererwa kyabwo, neyeeyama n’okuwanga Japan amawulire ku nsonga eno buli luvannyuma lw’ekiseera.
Abakaramoja basuubirwa okulima ebirime nga; omuwemba, kasooli, ne lumonde mu kaweefube w’okulwanyisa enjala n’endwadde eziva ku ndya embi.
Ebitundu by’e Karamoja bikosebwa nnyo ekyeya ekitabasobozesa kulima era bangi batuuka ne ku ssa ly’okutondoka enjala.
Government yatondawo ne minisitule nnamba okukola ku nsonga z’ebitundu bino, wabula obuyambi bungi obuba buteekeddwa okutuuka ku bantu bano okukyusa obulamu bwabwe, bubulankanyizibwa abagambibwa okuba abanene mu government yennyini.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K