Ensi yonna olwaleero ekuzizza olunaku lw’amazzi amayonjo, essira liteekeddwa ku ky’okukubiriza abantu buli omu waali okutaasa obutonde bwensi omuva amazzi amayonjo, babutwale ng’eky’omuwendo, bagakuume ku lw’obulamu obulungi.
Muno mulimu obutayikuula bisenyi, ebibira, emigga nga basimayo amayinja n’omusenyi, n’okugogola enzizi, obutasuulamu kazambi, obuveera n’ebintu bya pulasitika ebirala.
Olunaku luno olw’amazzi amayonjo lwateekebwawo ekibiina ky’amawanga amagatte ki United Nations mu mwaka gwa 1992 mu kibuga Rio de Janeiro ekya Brazil.
Mu butongole lwatandika okukuzibwa nga 22 march, 1993.
Olw’omwaka guno 2022 lukuziddwa ku mulamwa gw’okwefuumitiriza ku nsulo z’amazzi eziri eyo wansi mu ttaka, nga zino zeziiriikiriza enzizi,ennyanja, emigga, entobazi, n’ebirala.
Omulamwa guno gugendereddwamu okukuuma obutonde bwensi, okutaasa ensulo ezo obutakalira, nga singa zikalira omwana w’omuntu wakubeera mu katyabaga kennyini.
Uganda yeemu ku nsi ezegasse mu nteekateeka y’okukuza olunaku luno olw’amazzi.
Avunaanyizibwa ku mutindo gw’ebyamazzi mu ministry of water and environment Eng Joseph Eyatu agambye nti amazzi amayonjo gakola omulimu gw’amaanyi mu kusitula omutindo gw’obulamu bw’abantu, okulwanyisa endwadde, enkulakulana y’ebitundu, okusitula ebyenfuna n’ebirala.
Abatuuze abawangalira ku byalo bibiri okuli ekye Namukuma ne Kasota mugombolola lye Busaana mu district ye Kayunga, bebamu ku bukadde n’obukadde bwa bannauganda abakosebwa ebbula ly’amazzi amayonjo.
Bagamba nti amazzi gebakozesa ge gamu aganywebwamu ebisolo, ekibaviirako okulwala endwadde eziva mu kunywa amazzi amakyafu.
Ssentebe w’e kyalo Namukuma nga ye Ziraba Idd, agambye nti kyebasinga okwetaaga mu kiseera kino, kwekubazimbira nnayikondo eziwera, wamu n’okubasimira enzizi.
Embeera y’ebyalo bino yeemu esangiddwa ne mu bitundu ebiwerako mu ggwanga, ng’abakyala n’abaana batambula e𝝶endo mpanvu ddala okufuna amazzi g’okukozesa awaka.
Oluusi amaka agamu tegafuna mazzi gamala, ng’anamatono gebafuna tegaba mayonjo.
Omumyuuka w’Omukulembeze w’eggwanga Rt Major Jesicca Alupo, yalabula nti awatali bannansi kwekuba mu kifuba nebava ku bikolwa eby’okutyoboola Obutondebwensi, Uganda yandikomekkereza nga effuuse ddungu.
Yasabye buli muntu okukola ekisoboka okuzzaawo byonna ebyonoonebwa bannakigwanyizi, omuli okubaloopa mu mbuga z’amateeka, okubakomako n’ebirala.
Jesca Alupo agamba, nti kubanga okwonoona obutonde n’ebbula ly’amazzi terijja kukoma kukosa bantu ba bulijjo abatina nsimbi, nti wabula n’abalowooza nti balina ensimbi.
Buno bwe bumu ku bubaka bwe bweyawa mu kutongoza ssabbiiti y’amazzi n’Obutonde bwensi ku mikolo egyayindidde ku ministry y’amazzi e Luzira.
Beatrice Anywa nga ye minister omubeezi ow’amazzi n’Obutondebwensi , asabye abakulembeze ku buli mutendera okukulemberamu kawefube, ow’okukuuma obutonde bwensi, neyeyanza Ssabasajja Kabaka okubeera emmunyeenye mu kulwanirira Obutondebwensi.
Beatrice Anywa agamba nti abasirikale abalwanirira Obutonde bwensi bakyali batono, so nga bandiyambyemu okukwasisa amateeka ag’okukuuma obutonde bwensi okutaasa ensulo z’amazzi okukala.
Abasirikale bano bali 180 bokka, kyokka mu butono bwabwe bwebagezaako okukola ekisaanye okukolebwa nti nga bafuna ebiragiro okuva mu baayise ba “Above”.
Paul Mugambe nga ye meeya w’egombolola ye Nakawa agamba nti awatali gavumenti kusala ku musolo gwesolooza ku mazzi, abantu bakwongera okulwala, olw’amazzi amakyaafu agali mu Kampala.
Ebitundu by’omugotteko bye bisinga okubeera mu katyabaga k’obutaba na mazzi mayonjo,nga nabamu bakozesa gamyala, so nga n’abalina enzizi ez’ensulo, ziri mu bifo bikyafu ebikulukutiramu kazambi.
Ku lwa bannaddiini abaakulembeddemu enzikiriza zonna, Father Constantino Mbonabingi okuva mu Uganda Joint Christian Council ,agamba nti omululu gw’ensimbi n’Obutamanya, byebisinze okuviirako Obutondebwensi okusaanawo, ekiviiriddeko bamusigansimbi okuttattana ebibira n’entobazzi mu Uganda eno.
Omubaka wa parliament owa Nakawa East Nsubuga Ronald Balimwezo agamba nti abakulu mu gavumenti basukka okwewoomya nga boogera ku butondebwensi, kyokka nga mu kubuttattana bakwata kisooka bagambye nti baswaazizza nnyo Uganda nebadda ne mu Kati.