President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni alonze Hajat Sharifah Buzeki nga ssenkulu w’ekitongole ki KCCA omuggya, okudda mu bigere bya Dorothy Kisaka eyali ssenkulu wekitongole kino wabula nagobwa gyebuvuddeko.
Hajjat Sharifah Buzeki mu kiseera kino Commissioner avunaanyizibwa ku nsonga z’abakozi mu ministry y’abakozi.
Hajjati Buzeki yoomu ku bantu abali eyo mu 40, abasaamu okusaba kwabwe okulondebwa ku kifo Kya ssenkulu wa KCCA ,nga bano bazze basunsulwa okumala ebbanga.
Amyuka omwogezi w’amaka gobwa president Farouq Kirunda, agambye nti president era alonze Benon Kigenyi nga omumyuka wa ssenkulu wa KCCA omuggya.
gambye nti amannya gababiri bano: Hajjat Sharifah Buzeki ne Benon Kigenyi gasindiikiddwa eri ministry y’abakozi ba government wamu n’akakiiko k’eggwanga akavunaanyizibwa ku kugaba emirimu aka Public Service okutereeza ensonga zabwe.
Benon Kigenyi alondeddwa ng’omumyuka wa ssenkulu wa KCCA, yaliko under secretary mu ministry y’ekikula ky’abantu.
Frank Lusa abadde ssenkulu wa KCCA okumala emyezi 3 wakuddayo mu kifo kye, ekya director avunaanyizibwa ku by’amateeka, songa abadde omumyuuka we Sarah Zalwango wakuddayo mu kifo kye ekya director avunaanyizibwa ku byobulamu mu KCCA
Okuva ekitongole ki KCCA lwekyatondebwawo ,kyakakulemberwa ba ssenkulu abakyala 3 okuli Jennifer Musisi ssemakulu ssenkulu eyasookera ddala, Dorothy Kisaka ne Sharifah Buzeki eyakalondebwa.
Wabula ba ssenkulu ba KCCA bonna abazze babeerawo okuva mu mwaka 2012, Entebbe ebadde ebookya ,abamu basuulawo nsuule songa abalala bagobwa bugobwa.
Dorothy Kisaka neyali omumyuuka we Eng David Luyimbaazi Ssali baagobwa era nebasibwa gyebuvuddeko, olw’emiteeru egyava ku kasasiro eyabumbulukuka e Kiteezi natta abantu abasoba mu 30, songa ye Jennifer Musisi yalekulira.#