Gavument ya Uganda esitukiddemu okutaasa bannauganda embeera beyakwatidde mu Iran ne Israel, olw’olutalo olukwajja wakati w’amawanga gombi.
Government ya Uganda etegeezezza nti waliwo abayizi 48 ababadde baagenda ku misomo mu Kibuga Tehran ekya Iran bezudde , era ekwataganye n’ebitebe bya Uganda mu Turkey, Qatar, Saudi Arabia ne United Arab Emirates okubayambako bayitire mu mawanga ago basobole okudda ekibabu.
Omuteesiteesi omukulu mu ministry y’ensonga z’amawanga amalala Vincent Bagiire mu kiwandiiko ministry ye kyefulumizza, agambye nti ku bitebe bya Uganda mu mawanga ago watereddwawo abakozi okukwaniriza bannauganda bano n’okubabudabuda.
Mu mbeera eno government esabye amawanga agaliraanye Iran okuli Turkey ,Azerbaijan ne Jordan okuyamba abayizi abazuuliddwa bagukkire eyo, baweebwe nebiwandiiko ebibakkiriza okweyongerayo.
Vicent Bagire agambye nti yo mu ggwanga lya Israel, baafunye amawulire okuva mu beηηanda n’ekitebe kya Uganda ekiriyo nti waliyo bannauganda abakolerayo emirimu egyenjawulo, naasaba bannayuganda abalina amawulire agasingako nabeetaga obuyambi bayite ku kibanja kya ministry y’ensonga zamawanga amalala bafune okuyambibwa.


Ng’ennaku z’omwezi 13 June,2025 wabalukawo olutalo kakuuse wakati wa Iran ne Israel olufiiriddemu abantu abawerako olwebikompola ebyesolesa mu bibuga okuli Tel Aviv ekya Israel nga biva mu Iran nebirala ebikasukibwa ku kibuga Tehran ekya Iran nga biva mu Israel, era abantu bangi babyaabulidde okunoonya obubudamu ewalala.
Government ya Uganda egambye nti okuggalwa kw’obwengula obw’amawanga gombiriri Iran ne Israel nga tewali nnyonyi ekkirizibwa kusaalimbirayo, kikaluubizza enteekateeka y’okuggyayo bannauganda abasobeddwa wabula ekola buli ekisoboka okubayambako.#