Government ya Uganda ekyasobeddwa ku by’okununula ensimbi obuwumbi 143 zeyawola abavubuka n’abakyala.
Ministry yekikula kyabantu etegeezezza nti ekalubiriddwa okuzinunula, nti kubanga abavubuka bangi abaaweebwa ensimbi ezo baabula songa abalala business zaafa.
Ensimbi zino zaawolebwa abavubuka mu nteekateeka ya Youth Livelihood Program songa abakyala baawolebwa ensimbi zino mu nteekateeka ya Uganda Women Empowerment program.
Ssaabalondoozi webitabo bya government Edward Akol mu alipoota ye gyeyakafulumya, alaga nti ku bbanja eryobuwumbi 131 government zeyali ebanja abavubuka n’abakyala mu mwaka gw’ebyensimbi 2023/2024, ministry yekikula kyabantu yasobola okununulako obuwumbi 8 bwokka endala zikyagaanye.
Aggrey Kibenge omuteesiteesi omukulu mu ministry y’ekikula kyabantu agambye nti ministry yeesanze mu kusooomozebwa okunoonya abavubuka abaafuna ensimbi ezo.
Agrey Kibenge agambye nti ne Projects nnyingi omwaetekebwa ensimbi zino zaafa, wabula nti wadde bagezaako okuzibanja naye esuubi ttono nnyo.
Mu kiseera kino ensimbi government zeyali essa mu nteekateeka ya Youth Livelihood fund ne Uganda women Empowerment Program UWEP yazisalako nezitwala mu nteekateeka ya Parish Development Model.
Agrey Kibenge agambye nti okusala ku nsimbi zino kiwadde ministry y’ekikula ky’abantu obuzibu okuzirondoola, kubanga ensawo eyali yateekebwaawo okuzirondoola ate yeemu kwezo ezagyibwawo.
Fortunate Rose Nantongo Omubaka omukyala owa district ye Kyotera era minister ku ludda oluvuganya government avunanyizibwa ku kikula ky’abantu, agambye nti omusingi omunnafu government kwetandiikira Projects zino kyekiviirako Projects zino okufa ttogge, omuwi w’omusolo naafiirwa ensimbi ezandibadde zikola ebiyamba eggwanga.