Government eweerezza obuwumbi bwa shs za 82 n’obukadde 900, eri government z’ebitundu mu district ez’enjawulo, okudaabiriza amasomero gaayo gonna agali mu mbeera embi.
Ensimbi zino zaakuzimba ebizimbe ebiri mu mbeera embi ku masomero aganaaba gakakasiddwa nti getaaga obuyambi buno, okugulira abayizi ebyetaagisa, okugula entebe z’abayizi, okusiiga langi ku bizimbe.
Obuyambi buno bujjidde mu kiseera nga government n’olukiiko lwa ba minister lwayisizza ebiragiro eri abakulu b’amasomero obutaddamu kusaba bayizi nsimbi nti zikulaakulanya masomero , ssente z’okulabirira abasomesa, eza PTA, abayizi obutasasula ssente za bibuuzo, nebirala.
Dr. Dennis Mugimba nga ye mwogezi wa ministry y’ebyenjigiriza akakasizza nti government z’ebitundu 176 zimaze okufuna ssente zino okukola emirimu egyenkizo ,okutandika n’okuddaabiriza amasomero.
Dr Mugimba era ayagala ababaka ba parliamne n’abakulembeze ab’enjawulo okufaayo okulondoola ensimbi zino, n’okuteeka akazito ku bagaddukanya okulondoola ebiba bikoleddwawo.
Bisakiddwa: Ddungu Davis