Government mu butongole etongozezza project mwetadde ssente zegenda okuwola abakyala okwekulakulanya, naye nga ssente zino egenda kuzibawolera ku magoba amatono ddala.
Project eno etuumiddwa Grow Enterprises for Women Loan, era omumyuka w`Omukulembereze we ggwanga Jesca Alupo yajitongozeza, ng’asinziira ku Hotel Africana.
Project Eno egenda kumala emyaka 5, eteereddwamu ensimbi obukadde bwa dollar ya America 217, zigenda kuwolebwa abakyala emitwalo 28,000 okwetoloola Uganda yonna.
Ssente zino ziteereddwa mu Bank 6 okuli DFCU, Equity, Finance Trust Bank, Centenary Bank, Poster Bank, ne Stanbic Bank, era nga buli Bank etereddwamu ensimbi obuwumbi bwa Shillings za Uganda 22.5bn.
Ssente zino zivudde mu Bank yensi Yonna eya World Bank, ng`omukyala agenda okuwolebwa ssente, ateekeddwa okuba nga business gyeyewolera okwekulakulanya ajirinako obwananyini n’ebitundu ebisoba mu 51%.
Omumyuka w`Omujulembeze weggwanga Jesca Alupo bwabadde atongoza project Eno, asabye abagenda okugaba ssente obutaziwuwutanya, olwo ekigendererwa bya government ekyokukulakulanya abakyala kituukirire.
Minister w’abakoozi, ekikula ky’abantu nenkulakulana y’abantu Betty Amongi,agambye nti ssente zino batubulidde kuziwola bakyala abalina bu business obutonotono, babwongeremu amaanyi basobole okwekulakulanya.
Bagenda kubawola ensimbi wakati w`obukadde 4 okutuuka ku bukadde 200, ku magoba ga bitundu 10%.
Agambye nti waliwo abakyala abatagenda kuwolebwa ssente buterevu, wabula nga bagenda kubawola ebyuma ebibayamba okwongera omutindo kubintu byebakola.
Beatrice Bigalambi okuva mu Centenary Bank emu ku Bank ezitereddwamu ssente zino, agambye nti wadde babagambye ssente okuziwolera ku magoba gabitundu 10%, nti naye bo abantu babwe abali mu byalo bagenda kubawolera ku bitundu 8% byokka.
Omukwanaganya wa project Eno mu ggwanga Dr. Ruth Aisha Biyimzika Kasolo, agambye nti abakyala bebanaawola ssente nebazisasula mu budde, bagenda kubadizamu akasiimo ka bitundu 5% kubuli omu zaba yewooze.
Bisakiddwa: Musisi John