Government mu butongole etongozezza enkola eya digital etumiddwa Uganda’s First Digital Transformation Road Map, egendereddwamu okutuusa internet mu bitundu by’eggwanga byona, n’okuteeka emirimu gyonna gyonna mu nkola ey’emitimbagano.
Omumyuka w`Omukulembeze w’eggwanga Jesca Alupo y’atongozza enkola eno eya digital, ku mukolo ogubadde ku Serena Hotel mu Kampala, n’agamba nti enteekateeka eno government egenda kugiteekateeka okumala emyaka etaano.
Mu bimu ku bigenda okukolebwako mu myaka 5, mulimi okubunyisa internet mu buli kanyomero k’eggwanga, okusala emiwendo gya internet, okukendeeza omusolo ogugyibwa ku computer n’essimu za smart phone.
Mulimu okusomesa bannauganda enkozesa ya computer, okubangula bannauganda okumanya n’okwela abafere abayita ku mitimbagano, okunonyeeza bannauganda emirimo nga beyambisa technogiya, nebirala.
Jesca Alupo agamba nti enteekateeka eno singa enabeera etambuziddwa bulungi, emyaka 5 bwejinagwerako ng’ebbula lyemirimu lifuse lufumo mu ggwanga.
Minister w’ebyamawulire n`okulungamya eggwanga Dr Chris Baryomunsi, agambye nti government egenda kweyambisa enkola eno eya digital etongozeddwa, okutuukiriza ebiruubirirwa bya government ebyokubbulula Uganda mu ddubi ly’obwavu.
Minister Omubeezi owa technologiya n’ebyuma bikalimageezi Oweek Joyce Nabosa Ssebugwawo, agamba nti enteekateeka eno etongozeddwa eya Technologiya, egenda kwanguyiiza bannauganda obulamu, n’okutuusibwako obuweereza obusaanidde.
Minister omubeezi owa Matendekero ag`owagulu JC Muyingo, agambye nti enteekateeka eno egenda kuyamba okutumbula ebyenjigiriza n`okuyambako abavubuka okwetandikirawo emirimu.
Elsie Attafuah akikiriira United Nations Development Programme UNDP mu Uganda, ayozaayozezza Uganda olw`okutuuka ku kkula lino, wabula n’alabula government nti singa enteekateeka eno tesoosoowazibwa nnyo mu bavubuka, abakyala n’abantu babulijjo nti tejjakuvaamu birungi.
Bisakiddwa: Musisi John