Government ya NRM etandise ku nteekateeka z’okukola ennongosereza mu tteeka erifuga eggye lya UPDF, okuwa kkooti z’amagye obuyinza obuwozesa abantu babulijjo abateereberezebwa okwenyigira mu misango egyekuusa ku kubeera n’ebyokulwanyisa ebirina okubeera mu mikono gy’amagye
Ng’ennaku z’omwezi 31 January,2025 ,Kooti ensukulumu yawa ensala yaayo bweyakatyemula nti kkooti z’amagye tezirina buyinza buwozesa bantu ba bulijjo.
Wabula kkooti eno ensukulumu yawabula government bweeba eyagala okutetereeza kkooti z’amagye; esobola okukola ennongosereza mu mateeka agafuga kkooti zino, okukyusa engeri abalamuzi baazo gyebalondebwamu, babeere nga baasoma amateeka, babeere bantu abali ku ddaala ly’abalamuzi ba kkooti enkulu, n’okuwa omwagaanya abantu abasingisiddwa emisango mu kkooti yamaggye okujjulira mu kkooti zabulijjo ezijjulirwamu
Okuwabula kuno government mweyagala okuyita okukola ennongosereza mu tteeka ly’amagye.
Ssentebbe w’ekibiina ekikulembera government ki NRM era omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ayise ensisinkano y’ababaka bannaNRM mu nsisiinkano eyenjawulo mu Maka g’obwa president ekya ku Friday nga 21 February,2025 ku ssaawa ttaano, okubanyonyola ennongosereza government zeyagala okukola mu tteeka ly’amagye.
Nampala wa government mu parliament Hanson Obua mu bbaluwa gyawandiikidde ababaka bannaNRM ebayita mu nsisiinkano eyo, agambye nti ababaka era bagenda kutegeezebwa ku mbalirira y’eggwanga eyomwaka gwebyensimbi 2025/2026 ekyali mu bubage.#