Abasuubuzi abakolera mu katale ka Kireka Main Market batandise okwewandiisa, nga government bweyabalagidde nga bweteekateeka okubazimbira akatale ak’omulembe mu nkola ya Greater Kampala Metropolitan Area Urban Development Program.
Bwabadde asisinkanye abasuubuzi abakolera mu katale nabakulembeze mu Kira Municipality, Minister omubeezi ow’ekibuga ekikulu Kampala Christopher Kabuye Kyofatogabye abasabye ensonga eno okujikwata obulungi okwewala akavuyo akatera okubaawo nekiviirako projects okukeerewa.
Mu nteekateeka eno Greater Kampala Metropolitan Area Urban Development Program, nga Kampala yaakufuna Obutale 4, Wakiso Obutale 3 ne Mukono obutale busatu.
Bwabadde asisinkanye abasuubuzi mu Katale kano e Kireka, minister omubeezi owa Kampala Christopher Kabuye Kyoofatogabye asabye abasuubuzi okuggya ebyobufuzi mu nkulaakulana y’akatale kano era n’abalagira batandikirewo okwewandiisa, kisobozese government okumanya abantu beerina okutekerateekera.
Minister Kyofatogabye asanze akaseera akazibu , abasuubuzi bwebamusabye yeggyeko abamu ku bakulira akatale akaliwo mu kiseera kino, bwebamutegeezezza nti beenyigira butereevu mu mivuyo gy’Okuzimba akatale akasooka, nga n’Olwekyo bandidda ku nsimbi z’Akatale akapya nebazibulankanya.
Ssentebe w’Akatale ka Kireka Main Market Steven Katende, asabye government esooke efunire abasuubuzi webakolera mu kiseera nga akatale kano kagayizibwa, n’Okulungamya ku ngabanya y’Emidaala eyinza obutabaamu bwenkanya.
Mayor wa division ye Namugongo Nkalubo Ronald Bulega asabye minister okubayambako government eyongera okuggula ekifo ekiriranye akatale kano, basobole okuzimba akatale akagazi obulungi.
Akatale kano kali ku ttaka lya Kisosonkole , era kasuubirwa okutuuza abasuubuzi 1000 n’Omusobyo, okuva ku basuubuzi 420 abakakoleramu mu kiseera kino.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo.