Ministry yebyenjiriza ekakasizza nti emaze okubaga amateeka agawera abayimbi abambala enkunamyo mu masomero, okuvunana amasomero agawa ebibonerezo ebikakali eri abaana , okulambika obubaga obumanyiddwanga Prom , n’abasaba abazadde ensimbi zookulambula ezisusse.
Ministry yebyenjiriza egamba nti ebikolwa eby’okukuba abaana n’okubawa ebibonerezo ebisukiridde kubadde kuzeemu nnyo nate mu masomero agenjawulo, nga neekikyasembyeyo keekatambi akaasaasaanira emitimbagano, nga kalimu abasomesa mu district ye Ntungamo abali bakuba omuyizi emiggo naatuuka n’okuddusibwa mu ddwaliro ng’embeera mbi.
Ismael Mulindwa, akulira okulondoola ebisomezebwa mu masomero ga secondary ne primary, asinzidde mu kusunsulamu abayizi abatwalibwa mu S.5, okuyindira e Lugogo, naagamba nti bamaze okubaga amateeka agaluηamya ku nteekateeka yokuwa ebibonerezo nga tewali kulumya baana.
Mulindwa agambye nti government etaddewo nakakiiko akagenda okunonyereza n’okusazaamu layisinsi zaabasomesa abanakwatibwa mu bikolwa ebyobukambwe ku bayizi, n’okubatulugunya.
Agambye nti abayizi balina kuweebwa bibonerezo ebisaamusaamu, sso ssi kubakuba nakubasambasamba.
Mungeri yeemu Mulindwa agambye nti government tegenda kuddamu kukkiriza bayimbi kukola bivvulu mu masomero kuba bangi bambala bubi mu ngeri eweebuula n’okusiiga ebifaananyi ekikyamu eri abaana b’eggwanga.
Agambye nti amateeka amajja agaayisiddwa olukiiko lw’abakulu mu ministry gakugira n’obubaga obumanyiddwa nga Prom party, obulimu okusaasaanya ensimbi ezisukiridde, n’okusaba abazadde ensimbi ezokulambula ezekyeyononero nti abaana babatwala mu mawanga amalala nga Dubai.
Mulindwa era alabudde ab’amasomero okwegendereza ebirwadde nga Ebola ne Mpox mu masomero ebizeemu okukosa eggwanga n’okugobereea ebiragiro ebya baweereddwa ministry y’ebyobulamu mu kutangira ebirwadde bino.
Bisakiddwa: Ddungu Davis