Government erangiridde nti eri mu nteekateeka ezizaayo eri parliament ennoongosereza mu mateeka agafuga eby’ettaka mu Uganda, okuggyawo emiziziko government gyebadde esanga mu kufuna ettaka okusaako project zaayo.
Minister omubeezi ow’ebyensimbi Amos Lugoloobi yabotodde ekyaama kino bwabadde mu kakiiko ka parliament akavunaanyizibwa ku mbalirira y’eggwanga.
Abadde ayanjula enteekateeka nnamutaayiika emanyiddwanga National Development Plan ey’omuteeko ogwokuna, government gwegenda okwesigamako okutambuza eggwanga emyaka 5 egijja.
Okusinziira ku minister Lugoloobi, government yewoze ensimbi mpitirivu zeeremeddwa okukozesa olw’enkalu ku ttaka, okuli amasanyalaze, enguudo zebeera eyagala okuyisaako n’ebirala, olwabannanyini ttaka okugaana ensimbi government zeebeera ebaliyirira mu ttaka lyabwe.
Minister Lugoloobi agambye nti government okutuukiriza emiramwa nebirubiirirwa ebiri mu National Development Plan eyomutendera ogwokuna, egenda okutandiika omwaka gw’ebyensimbi ogujja 2025/2026 , government yakukyuusa mu mateeka g’ettaka eyanguyirwe okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwayo.
Kinnajjukirwa nti emyaka nga etaano egiyise, government yali ekoze ennoongosereza mu ssemateeka w’eggwanga n’ekigendererwa ekyokwezza obuyinza okutwala ettaka lyonna lyeeba yetaaze okukolerako projects eziyamba bannansi, nti nannyini lyo nebwaaba agaanyi ensimbi ezimuweereddwa mu ttaka eryo.
Ennongosereza zino, wabula government yamala neziwandukulula mu parliament
Ssemateeka w’eggwanga ennyingo eya 26(1) awa bannansi obuyinza ku bintu byabwe nga mwemuli ettaka, nga government bweba yetaaze ettaka eryo erina okusooka okusasula nannanyini lyo ensimbi ezirijaamu nga tenalitwala okulikozesa.
Kino government kyeyali eyagala okukyuusa nti etteka eritwaale erikozese byeyagala , nnanyini lyo bwaba agaanyi ensimbi ezimuweereddwa, olwo gavument ensimbi eziteeke mu kooti okutuusa kkooti lwerisalawo omusango gw’ettaka eryo ne project bwetambula.#