Government eri mu nteekateeka ezisembayo okusalawo ekiddako ku ngassi eya Express Penalty System ekubwa abagoba b’ebidduka abamenya amateeka gokunguudo, gyeyali yayimiriza gyebuvuddeko.
Engasi eno government ng’eyita mu ministry y’ebyentambula yagiyimiriza okumala omwezi mulamba, esooke eddemu yetegerezebwe oluvanyuma lwa bannansi okwemulugunya nti yali efumbekeddemu emigoozoobano, naddala ensimbi empitirivu. ezisasulwa ku buli mmotoka ekwatibwa ku Camera.
Omu ku boogezi ba ministry yebyentambula Allan Ssempeebwa agambye nti okuva engasi Eno lweyayimirizibwa ebitongole bya government ebikwatibwako ensonga eno, bibadde bisisinkana era ng’essaawa yonna, government yakulangirira ekinaaba kisaliddwawo.
Minister w’ebyensimbi Matia Kasaija bweyali assomera eggwanga embalirira y’omwaka gw’ebyensimbi 2025/2026, yakyoogera Kaati nti engassi eyo eya Express Penality system yakusigalawo ,government egenda kugiterezaamu Katono naye tesobola kugiggyawo.
Enkola Eno eeyokukuba abagoba bebidduka engasi etambulira wamu nenteekateeka ya namba plate z’ebidduka endigito, government gyeyakwasa kampuni yabaRussia eya Joint stock Company Global security, era ensimbi ezisinga obungi ezisoloozebwa mu ngassi yokumenya amateeka gokunguudo, kampuni eyo yezitwala.#