Government efulumizza alipoota ekwata ku bulwadde nénfa y’eyali sipiika wa parliament eye 11 Jacob Oulanyah, eraze nti yafudde kirwadde kya kkookoolo, amaze akabanga ngámutawaanya okuva mu mwaka 2019.
Alipoota eno ekwata ku nfa y’omugenzi essomeddwa minister w’ebyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng mu parliament etudde leero okukungubagira omugenzi.
Minister Aceng ategezezza nti obulwadde bwa Jacob Oulanya bwatandika mu mwaka 2019, oluvanyuma lwokufuna ekizimba mu bulago, era nágenda e German nebakirongoosa nebamutegeeza nti yali alina kkookolo.
Okuva olwo Jacob Oulanyah yagendanga mu malwaliro agenjawulo, wabula mu biseera by’omuggalo ogwaleetebwa Covid 19 n’akalulu ka 2021,teyasobola kugenda mu ddwaliro kwongera kumukebera nakumujanjaba.
Minister anyonyodde nti mu January 2021, baamutwala mu ddwaliro e Mulago erijanjaba kkookolo, era eno yalina okumalayo wiiki bbiri.
Baalina okumuteekateeka basobole okumutwala mu mwaliro amalala agebweru wa Uganda, oluvanyuma lwokumukebera mu byuma ebyenjawulo ebikalirira kkookolo,nebizuula nti yali asaasaanidde amagumba ge ngátuuse ne mu busomyo.
Minister Aceng agambye nti baali bakola ku nteekateeka ezokumusaamu obussimu obupya mu mubiri, okumuwonya okumukaliriranga olutatadde, okumalamu obutofaali obwali buliiriddwa kkookoolo.
Abasawo 15 abaakulemberwamu ssenkulu w’eddwaliro lya Kkookolo e Mulago Dr Jackson Oryem, baakola butaweera okumujanjaba mu kiseera bweyali e Mulago.
Okusinziira ku Dr Jane Ruth Aceng, omugenzi bweyatwalibwa mu America, abantu 5 bebaamugenderako okwali Patricia Lakidi, Christine Aol abaali bamulabirira, abakuumi be saako Dr Jackson Oryem.
Okusinziira ku Dr Aceng, omugenzi bweyatuuka mu ddwaliro mu America, baddamu okumwekebejja, nebazuula nti obusomyo bwe, bwali buliiriddwa kumpi kubumalawo.
Obutonotono obwali busigaddewo, bwali tebukyasobola kuzaala buttofaali bw’omubiri obulwanyisa endwadde okuli White blood cells ne red blood cells.
Minister Aceng ategezezza nti embeera eno yaviirako ebitundu byómubiri gwe okuli ekibumba,ensigo,nébirala okutandika okusirika kimu ku kimu nga tebikyakola,kkyo ekibumba kyasirika akyali wano mu Uganda.
Agambye nti bweyatuusibwa mu America, nti wadde obujanjabi bwaliyo era nga yali wakubufuna, wabula baali tebayinza kubumusaako, olwómubiri ogwali gwongedde okunafuwa.
Bagezaako okulaba nga guddamu amaanyi wabula nebigaana, era oluvannyuma nómutima negusirika.
Minister Aceng anyonyodde nti omugenzi abadde talina kalulwe, akasaale mu kukola obutofaali bw’omubiri obulwanyisa endwadde, nti kubanga kaali kaamujjibwamu mu mwaka gwa 1990, oluvannyuma lwóbuvune bweyafuna abakuuma ddembe bwebaamukuba, ngábayizi békalakaasa ku University e Makerere.
Rebecca Alitwala Kadaga eyaliko sipiika wa parliament eye 10, nga Oulanyah yali mumyuka we, agambye nti obulwadde bwa Oulanyah yabumanyako mu mwaka 2019, bweyali amunoonya ng’aliko ensonga zamwebuzaako, kwekuzuula nti yali alongooseddwa.
Bweyakimanya yategeeza omukulembeze w’eggwanga embeera ya Oulanyah bweyali eyimiridde.
Kadaga asabye palament nti mukujjukira omugenzi, government eteekese mu nkola etteeka erikuuma obwannanyini ku biyiiye, omugenzi lyeyabaga ngómubaka mu mwaka gwa 2006.
Omumyuka wa President Retired Maj. Jessica Alupo, agambye nti obukugu Jacob Oulanyah bwabadde nabwo ku nsonga z’amateeka, obukulembeze n’entambuza y’emirimu nti ssi bwangu kusangika.
Alupo agambye nti government egenda kumusubwa nti kubanga ne mu kalulu kómwaka oguyise 2021, Oulanyah yakola butaweera okununula ekitundu ky’obukiiko kkono okudda mu mikono gya NRM, nti kubanga kyali kimaze emyaka egisoba mu 10 nga NRM tekiwangula.
Ababaka ba parliament abenjawulo baweereddwa omukisa okwogera ebirungi byebabadde bamanyi ku sipiika Jacob Oulanyah.
Omubiri gwa Oulanyah gugenda kusuzibwa mu parliament okutuusa olunaku lwénkya ku lwókusatu lwegunaggibwayo gutwalibwe mu kisaawe e Kololo, eggwanga okumukungubagira mu butongole nókumusabira.
Okusinziira ku nteekateeka eyafulumizibwa minister wóbwa president era ssentebe wókuziika Milly Babalanda, omubiri gwa Oulanyah olunaggibwa e Kololo gusuubirwa okuteekebwa ku nnyonyi butereevu, gutwalibwe e Omoro gyágenda okuziikibwa ku lwókutaano nga 08 April,2022.
Jacob Oulanyah yazaalibw anga 23 march,1965 naafa nga 20th march,2022.
Yayingira parliament mu 2006, mu 2011 nafuuka omumyuka wa sipiika, mu 2021 nálondebwa ku kifo kya sipiika.
Ababaka ba parliament bamwogeddeko ngómuntu abadde omukulembeze omulungi, afaayo ku nsonga ezigasiza awamu eggwanga sso ssi ye ngómuntu.
Akulira oludda oluvuganya government mu parliament Mathius Mpuuga agambye nti obukulembeze bwa Oulanyah, bwali bubawadde essuubi ngáboludda oluvuganya government okutambulira awamu ku nsonga ezikosa eggwanga.
Mu kukubaganya ebirowoozo, ababaka baaweereddwa eddakiika bbiri, wabula wabaddewo abayombye nti obudde obubawereddwa butono okwogera ku Oulanyah, wabula bano Thomas Tayebwa abaanukudde nti obudde obubaweereddwa bumala.
Omubaka wa Kilak South Gilbert Oulanya bwaweereddwa omukisa okwogera ku mugenzi awakanyizza alipoota ku nfa y’omugenzi, goverment gyewadde nti yafudde kkookoolo.
Gilbert Oualanyah agambye nti ye tagikkirizza wadde, naagamba nti kuba abantu okuva mu Acholi abazze basuumuka mu bifo by’okulembeze byéggwanga lino ebyenjawulo nti baze bafa mu ngeri eriko ebibuuzo.
Wabula Thomas Tayebwa omumyuka wa sipiika alabudde omubaka Gilbert Oulanyah nti aleme kusamwasamwa n’ebigambo ebyawukana ne alipoota ewereddwa government.
Thomas Tayebwa alagidde nti ebigambo bya Gilbert bisiimulwe ku biwandiiko bya parliament.