Amasaza 8 gesozze omutendera gwa quarterfinal mu mpaka z’amasaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere ez’omwaka guno 2024, oluvanyuma lw’omutendera gw’ebibinja okukomekerezebwa.
Mu kibinja Bulange; Buddu eyiseewo ne Kyadondo, olwo Buluuli, Butambala, Bugerere ne Bulemeezi ne bawanduka.
Mu kibinja Muganzirwazza; Buweekula, Ssingo ne Kyaggwe be basiyiseewo, olwo Mawogola, Gomba ne Kkooki ne bawanduka.
Mu kibinja Masengere; Busujju, Kabula ne Mawokota bayiseewo olwo Busiro, Buvuma ne Ssese ne bawanduka.
Emipiira egigaddewo omutendesi gw’ebibinja, mu kibinja Bulange, Buddu egudde maliri ne Buluuli 1-1, Kyadondo ekubye Bulemeezi goolo 4-2 ate nga Bugerere egudde maliri ne Butambala 0-0.
Mu kibinja Muganzirwazza; Buweekula erumbye Ssingo omwayo n’egikubirayo goolo 2-0, Kkooki ekubye Mawogola goolo 3-0 ate nga Kyaggwe egudde maliri ne Gomba goolo 1-1.
Mu kibinja Masengere; Busujju ekubye Buvuma goolo 3-0, Mawokota ekubye Kabula goolo 1-0 ate nga Busiro erumbye Ssese omwayo n’egikubirayo goolo 3-2.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe