Olukiiko oluddukanya ttiimu y’essaza Gomba lulangiridde omutendesi omuggya Mukasa Nasibu okudda mu bigere bya Frank Mulindwa eyajaabulidde.
Nasibu amumyukibwa William Kyeswa.
Richard Makumbi yalangiriddwa okukulira emirimu egy’ekikugu ku ttiimu ya Gomba, azze mu bigere bya Edward Ggolola.
Mu mipiira ebiri Gomba gyeyakazannya mu mpaka z’amasaza omwaka guno tewanguddeyo mupiira n’ogumu.
Mu gwasooka e Kabulassoke, Kyaggwe yagikuba ggoolo 2-0 ate ogwakasembayo Ssingo yagikubye ggoolo 4:0 ku kisaawe e Mityana.
Wadde Gomba ly’essaza erikyasinze ebikopo mu mpaka z’Amasaza erina 5, ku mulundi guno essuubi ttono nnyo okuva mu kibinja Muganzirwazza omuli Ssingo, Kyaggwe, Buweekula, Mawogola ne Kkooki.
Gomba egenda kuzaako okukyalira Mawogola e Ssembabule ku Sunday eno nga 14 July,2024 nga gwebalinamu essuubi okudda engulu.
Gomba yawangula mu 2004 empaka z’amasaza bwezaali zittukizibwa, 2009, 2014, 2017 ne 2020.
Wabula banna Gomba basuubira nti wadde entandikwa eri bweti basuubira nti bajja kuddamu endasi.
Ebimu ku binokoddwayo ebisudde omutindo gw’essaza Gomba mu mpaka z’omulundi guno, kuliko abatendesi n’ebbula ly’ensimbi okulabirira abazannyi.
Gomba omwaka ogwayita 2023, yassaawo okuvuganya okw’ekika eky’awaggulu bweyatuuka ku z’akamalirizo ne Bulemeezi, abaana ba Kkangaawo nebawangula ekikopo ku ggoolo 1:0 eyateebwa Johnson Ssennyonga mu kisaawe e Wankuluku.
Frank Mulindwa yasuddewo omulimu gw’okutendeka Gomba ng’alumiriza nti waliwo embeera ey’okusomooza ebadde temusobozesa kusigala nga atendeka Gomba.
Frank Mulindwa atendeseko amasaza amalala okuli Busujju ne Buweekula, wabula ajjukirwa okutuusa Buweekula ku final mu 2021 naye Buddu n’ebatwalako ekikopo.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe