Entiisa n’ekikangwa bibuutikidde abalunnyanja abawangaalira ku mwalo gwe Ntuuwa ku Kizinga Bunjazi mu Gombolola ye Kyamuswa mu district ye Kalangala , Ggoonya eridde omukazi abadde agenze okusena amazzi ku lubalama lw’ennnyanja.
Abatuuze bano aboogedde ne Cbs radio, bagambye nti basula kubutaakye olwa ggoonya ezifuuse ekyambika, ngabantu abawerako okuli abakulu n’abaana ggoonya zibalidde.
Bawanjagidde abakulembeze mu district ye Kalangala, okuli nabavunaanyizibwa ku bisolo byomunsiko, babataase ku ggoonya zino ezoolekedde okubamalawo.#