Omuduumizi w’eggye ly’eggwanga erya UPDF era omuwabuzi omukulu owa President ku nsonga z’ebyokwerinda Gen.Muhoozi Kainerugaba alabudde ku nkozesa embi ey’emikutu gy’ebyempuliziganya naddala mu kiseera kino eky’ebyobufuzi ebikaaye, okubikola n’obwegendereza mu ngeri etakosa bya kwerinda bya ggwanga.
Mu bubaka bwatisse Minister w’abaana n’abavubuka Hon Balaam Barugahara mu nsisinkano n’abatandisi b’emikutu gy’ebyempuliziganya n’abagiddukanya, Gen Muhoozi agambye nti ng’abebyokwerinda tebajja kuttira muntu yenna ku liiso akozesa emikutu okusiga obukyayi, okusiiga abalala enziro, okutondawo obubinja binja n’ebirala ebikontana n’amateeka g’eggwanga naddala ku nsonga z’ebyokwerinda.
Agambye nti bannanyini mikutu, bannamawulire n’abasunsuzi kibakakatako okufulumya amawulire agasunsuddwa obulungi obutabaako gwebakosa ate nga matuufu.
Mu ngeri yeemu Muhoozi asabye wabeewo okukolera mu mwoyo gw’okwagala ensi Uganda, obutakontana na mateeka wamu n’okukolagana obulungi n’ebitongole byebyokwerinda okwewala obukuubagano.
Agambye nti bannanyini mikutu n’abasunsuzi b’amawulire, President yalagidde batwalibweko mu ttendekero ly’obukulembeze e Kyankwanzi babangulwe mu miramwa gy’obuweereza bwabwe.
Ayagala okubangulwa kuno kuleme kusussa nga 30 June w’omwaka guno 2025.
Ssenkulu w’ekitongole ekiruηamya eby’empuliziganya mu ggwanga ekya Uganda Communications Commission Hon Nyombi Thembo, asabye emikutu gy’amawulire gyonna obutava ku mulamwa nga bafulumya amawulire ag’engeri yonna, kiyambe okutumbula emirembe n’obutebenkevu bw’eggwanga.
Nnyombi Tembo agambye nti ng’ekitongole ekyakwasibwa omulimu gw’okuluηamya eby’empuliziganya mu ggwanga, sibakuloonzaloonza kukangavvula abafulumya amawulire agateeka eby’okwerinda by’eggwanga mu katyabaga.
Agambye nti nga bakolaganira wamu nabakuuma ddembe balondoola emikutu gy’ebyempuliziganya okuli Radio, TV, n’emitimbagana, abanakwatibwa kakubajjuutuka, mu lunnabuddu kyakaatirizza nti “Its not business as usual”.