Gavumenti nga eyita mu kitongole ekiteekerateekera eggwanga ki Uganda National Physical Planning Board erangiridde nti yakuvunaana mu mateeka abantu abalina ebizimbe ebitali bisiige, abamansa kasasiro mu bibuga, n’Okumenya buli kizimbe ekitali mu mateeka
Etteeka erya Physical planning Act 2010 lyeliyitiddwaamu okuteekawo engassi n’ebibonerezo , nga mu kino omuntu akwatibwaako nga asuula kasasiro wakusibwa omwaaka gumu mu kkomera, oba okuwa engassi ya bukadde bwa shilling za Uganda 2.
Etteeka lyeerimu lyakukangavvula abantu abatayonja nzigya webasula , n’Okuweesa engassi amayumba agetooloddwa ensiko, nga ekibonorezo kiri wakati w’Obukadde bwa shilling 2 n’Okusibwa mu nkomyo omwaaka gumu.
Bwabadde alangirira etteka lino ku Media Centre mu Kampala, akolanga ssentebe w’Olukiiko olutwaala ekitongole ekiteekerateekera eggwanga Amanda Ngabirano, agambye nti bagenda kusooka nakusisinkana banyini bizimbe mu bibuga 10 ebyakakasiddwa gavumenti, oluvanyuma ebikwekweeto bitandike.
Ngabirano ategeezezza, nti ekitongole kino kyakukolagana butereevu ne bassentebe b’amagombolola n’emiruka okutuusa obubaka obukwaata ku bizimbe ebitali bisiige langi, nga n’enyumba ezisulwaamu tezitaliziddwa.
Mungeri yeemu Ngabirano ategeezezza nti ku mulundi guno tebagenda kuttira ku liiso nyini kizimbe yenna nga kyazimbibwa mu ntobazzi, ku mabbali g’Oluguudo neebyo ebitaweebwa lukusa nga bizimbibwa.