Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA, kironze abatendesi Fred Muhumuza ne Morley Byekwaso, okubeera ku ttiimu ya Uganda Cranes egenda okuvuganya mu mpaka za Africa Nations Championships (CHAN) ez’omwaka guno 2025.
FUFA ekakasiza nti abatendesi bano bagenda kuba bakolera wansi w’omutendesi ow’okuntiko Paul Joseph Put n’omumyukawe Sam Ssimbwa.
Fred Muhumuza mutendesi ku club ya Vipers, ate nga Morley Byekwaso mutendesi ku club ya Villa Jogo Ssalongo.
Empaka za CHAN zigenda kuzannyibwa okuva nga 02 okutuuka nga 30 August,2025.
Zigenda kutegekebwa Uganda, Kenya ne Tanzania.
Uganda mu mpaka zino eri mu e
kibinja C ne Niger, Guinea, Algeria ne South Africa.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe