Akakiiko k’eggwanga ak’ebyokulonda kakakasizza abakulembeze abaalondebwa ekiwayi kya FDC ekituula ku kitebe ky’ekibiina kino e Najjanankumbi ,nti bebakulembeze b’ekibiina kino abatuufu.
Amannya agakakasiddwa akakiiko k’ebyokulonda mu bbaluwa eyawandiikiddwa omuwandiisi w’akakiiko k’ebyokulonda Leonald Mulekwa ,eraze nti ekibiina kino kikulemberwa Eng Patrick Oboi Amuriat, omumyuka we mu Buganda ye Yusuf Nsibambi, ssabawandiisi w’ekibiina kino ye Nathan Mandala Mafabi, songa Ssentebbe w’ekibiina kino ye Hon Jack Sabiiti n’abakulembeze abalala
Yusuf Nsibambi amyuuka president mu Buganda agambye nti baawandiikira akakiiko k’ebyokulonda nga bakasaba kabanyonyole abakulembeze abatuufu ab’ekibiina kino,oluvanyuma lwekibiina kino okukaayanirwa ekiwayi kyabannaFDC abatuula ku Katonga road mu Kampala.
Ekibiina kino kyagwamu nnabe, bannaFDC abatuula e Katonga bwebaalumiriza banaabwe abatuula e Najjanankumbi okufuna ensimbi okuva mu NRM okusanyaawo FDc, era bannaFDC abatuula e Katonga nebalangirira olutalo kakuuuse okununula FDC okuva mu mikono gyaabo nti abaafuna ensimbi za NRM.
Kinnajjukirwa nti gyebuvuddeko eyo, bannaFDC abatuula e Katonga baalangira enteekateeka z’okuggalawo ekibiina ki FDC batandiike ekibiina ekiggya.
Yusuf Nsibambi wabula agambye nti oluvanyuma lw’akakiiko k’ebyokulonda okukakasa nti bbo abatuula e Najjankumbi bebakulembeze ba FDC abatuufu, enteekateeka yokuggalawo ekibiina ki FDC tekyasoboka.
Kinnajjukirwa nti byebuvuddeko, kooti ya Buganda Road yakakasa Ambasador Wasswa Biriggwa nti ye Ssentebbe wa FDC omutuufu ,wabula kko akakiiko kebyokulonda kagambye nti kamanyi Jack Sabiiti
Ambassador Wasswa Birigwa agambye nti akakiiiko kebyokulonda ne bannaFDC abatuula e Najjanankumbi bali mu buzannyo bwabwe.#