Abakulembeze b’ekibiina kya FDC ekiwayi kye Katonga baanjulidde akakiiko k’ebyokulonda enteekateeka zabwe ez’okuggulawo ekibiina ekiggya okwekutula ku FDC eyawamu.
Ekibiina ekiggya bagala kukituuma Peoples’ Front For Freedom PFF nga kino kyekigenda okugatta abekutula ku be Najjanankumbi.
Akabonero kabwe ka ssimu eri mu langi enjeru ne langi eya bululu.
Omubala gwabwe gugamba nti Freedom for All-All For Freedom.
Balinze Kakiiko k’ebyokulonda okwekeneenya empapula zebataddeyo, kasalewo eky’okubakolera.
Wabula FDC ye Katonga ekyali ne ku nteekateeka ez’okusattulula ekibiina kyonna ekya FDC.
Bisakiddwa: Sharif Lukenge