FDC eyagala amawanga ag’emikago egyenjawulo Uganda mweri nga mmemba, námawanga agagiriraanye gagikwasizeeko mu kulwanyisa ekitta bantu ekikudde ejjembe mu Karamoja.
President wa FDC Patrick Oboi Amuriat abadde mu luku𝝶aana lwa bannamawulire olutudde ku kitebe kyé kibiina e Najjanankumbi, n’agamba nti ekiseera kituuse amaanyi gonna kati gateekebwe mu kufefetta ebyokulwanyisa byonna ebiri mu kitundu ekyo, nókulwanyisa abalumbaganyi.
Amuriat agamba nti government erina okuggya ebyóbufuzi mu nsonga zé Kalamoja, wabula obwanga bwonna ebwoelekeze ku kyókukyusa endowooza yábavubuka mu kitundu ekyo, nti kubanga kiyinzika okuba ng’abasinga okwenyigira mu bikolwa bino bebavubuka abatalina mirimu.
Bagala era wabeewo enteekateeka y’okutabaganya abantu abatalima kambugu nábakalamoja n’okukomya obubbi bw’ebisolo.
FDC egamba nti amawanga okuli Kenya ne South Sudan galina okukolera awamu ne Uganda, okutereeza ekitundu kye Kalamoja, omuli okulwanyisa abakukusa emmundu mu kitundu ekyo nábanyazi bénte.
Muno mulimu Abapokot n’Abatunaka okuva mu Kenya n’abalala abafubutuka mu South Sudan.
Wabaddewo obunkenke enkya ya leero, Aba Kalamoja bekumyemu ogutaaka, nebaggala amakubo.
Babadde bakugira CAO we Abimu obutatuuka mu office ye, nga balaga obutali bumayivu olwébyokwerinda ebitamatiza, ng’ettemu lyeyongera mu bitundu ebyo, nga likolebwa abakwata mmundu abanyazi bénsolo.
Amuriat agamba nti embeera eri mu Kalamoja yandiba ngésinga ku bunyazi bwénte,nti nga wandibaawo nékkobaane eryókunyaga ebyóbugagga byomuttaka ebiri mu Kalamoja.
Wiiki bbiri eziyise abakungu bá ministry yébyóbugagga ebyomuttaka babiri nábasirikale babiri battibwa abakwata mmungu, bwebaali bagenze okubaako byebanoonyerezako mu Kalamoja.
Mu ngeri yému Amuriat ategezezza nti kye kiseera ba Minister abamu okulekulira ebifo byabwe, bwebaba tebasobola kukola ku bizibu ebiruma bannansi.
Anokoddeyo nébbeyi yébintu eyeyongera okwekanama, ngábakulu abakwatibwako basirise.
Ebbeeyi yámafuta yeyasooka okurinnya ku ntandikwa yómwaka guno, government netegeeza nti yali evudde ku ba ddereeva bébimotoka ebisabaza amafuta okwediima, wabula wadde ngókwekalakaasa kwakoma, ebbeeyi teyadda mabega yeyongera bweyongezi nókutuuka kakano.
Okuva olwo nébbeeyi yébintu ebirala yagenda nayo neyongera okulinnya negyebuli eno.