President wa FDC eye Najjanankumbi Patrick Amuriat atongozza enkola ey’okuwandiisa ba memba ba FDC okuyita ku mutimbagano.
Enkola eno agitongolezza mu kibuga Jinja, ewakungaanidde banna FDC abazze mu bungi ddala.
Mukusooka wabaddewo akanyoolagano mu kibuga, police netuuka okukuba amasasi mu bbanga okubalemesa okuyita mu kibuga wakati.
Sabawandiisi wa FDC Nandala Mafabi asekeredde bannaFDC ekiwayi kye Katonga nti abaagala okusanyaawo FDC, nagamba nti tebagenda kumalako.
Bisakiddwa: Kirabira Fred