Akulira Ababaka ba FDC mu parliament era omubaka wa Mawokota South Yusuf Nsibambi, alangiridde nti mu bbanga lya wiiki 2 bagenda kufulumya enkalala z’abantu be bagenda okuwa kaadi za FDC, okuvuganya mu kalulu ka bonna ak’omwaka 2026.
Kino kigidde mu kaseera ng’akakiiko k’eby’okulonda kaakagoba okuwandiisibwa kw’ekibiina ekijja ki People’s Front For Freedom, banakibiina ki FDC ekiwayi kye Katonga kyebabadde bavuddeyo nakyo olwensonga ezitali zimu.
Nsibambi agamba mu bbanga ttono, nga FDC emanyiddwa mu mateeka baakufulumya olukalala lw’abantu bonna bebagenda okuwa kaadi okwesimbirawo ku kaadi za FDC.
Agambye nti mu nteekateeka eno waliwo ababaka ba parliament abaliyo mu kiseera kino ku kaadi ya FDC abatagenda kuddamu kuwebwa kaadi.
Wabula Nsibambi awadde amagezi ababaka abali ku kaadi ya FDC bonna abeefuula nti baayabulira ekibiina okukomawo mu bwangu ng’omukisa tegunagwawo kubanga negyebaddukira ssi birungi.
Bisakiddwa: Nabagereka Edith