Omugoba wa loole kika kya Sino truck UBL 790J eyatomera essomero lya Kasaka SS mu Gomba, n’etta abayizi 4 n’abalalal abasoba mu 20 nebalumizibwa agguddwako emisango 4, akkirizaako gumu.
Ku misango egimugguddwako kuliko okuvuga ekidduka nga talina lukusa ( permit) nga guno agukkizza era bamusalidde ekibonerezo kyakusibwa omwaka gumu oba okutanga emitwalo nkaaga, okuvugisa ekimama, okwononoona ebintu by’e ssomero, okutta abantu n’okubalumya
Omulamuzi w’eddaala erisooka atuula e Kanoni Poline Ssabakaak, y’asomedde Abudala Wannume emisango gino.
Wannume olumaze okumusomera emisango n’atwalibwa mu ddwaliro ly’e kkomera lye Luzira okufuna obujjanjabi.
Alagiddwa okukomezebwawo mu kkooti eno nga 30.5.2023 okumutegeeza okunonyereza ku misango gye wekutuuse.
Nga 14.3.2023 Wannume yali avuga loole ettikka omusennyu Sino truck yawaba neyingirira essomero lya Kasaka SS mu district ye Gomba, neyita mu bizimbe by’essomero 2, netta abayizi 4 n’abalala abasoba mu 20 yabaleka n’ebisago.
Bisakiddwa: Yoweri Musisi