Eyaliko Supreme Mufti Sheik Suliman Ndirangwa avudde mu bulamu bw’ensi mu ddwaliro e Mengo, nga 20 June,2025.
Hajji Musa Kavuma nga ono taata w’omugenzi ategezezza CBS nti omugenzi abadde amaze ekiseera ng’atawanyizibwa obulwadde bwa Kookolo ne Sukaali.
Hajji Kavuma agambye nti Sheik Ndirangwa wakusaalirwa mu muzikiti omukulu e Wandegeya mu Kampala ku ssaawa ssatu ez’okumakya nga 21 June,2025, n’oluvannyuma aziikibwe e Kiryaηηoma mu Lwengo district, ku ssaawa kkumi ez’olweggulo.