Kkooti ejulirwamu ekendeezezza ekibonerezo eky’amayisa ekyali kyaweebwa omusajja Fred Bamuwaira nga mutuuze we Bugiri mu Busoga, bweyakkiriza omusango gw’okusobya ku baana abato nga kati ono w’akusibwa emyaka 23 gyokka.
Mu 2013 kkooti enkulu yasiba Bamuwaira eyali ow’emyaka 46, mu nkomyo yebakeyo obulamu bwe bwasigazizza ku nsi, bweyakkiriza omusango gw’okutunuza mu Mbuga za sitaani omwana owemyaka 10 gyokka.
Bamuwaira yategeeza kkooti nti ebyokusobya ku batanettuuka bwali buzannyo bwe, nti era yali y’akasobya ku baana 20, era ebigambo bino byanyiiza kkooti kwekumukaliga amayisa.
Wabula yaddukira mu kkooti ejulirwamu n’asaba ekisonyiwo n’okumukendeereza ku kibonerezo ekyamuweebwa, era abalamuzi ba kkooti eno b’akizudde nti omulamuzi okukaliga Bamuwaira ekibonerezo ekikakali bwekityo yakikola mu busungu.
Abalamuzi 3 aba kkooti ejulirwamu okuli; Geofrey Kiryabwire, Muzamiru Kibedi ne Monica Mugenyi bakkiriziganyiza okukendeeza ekibonerezo kino okukizza ku myaka 23, nti kubanga Bamuwaira teyayonoona budde bwa kkooti bweyakkiririzaawo omusango guno.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam