Club ya Express mukwano gw’abangi ne Uganda Revenue Authority, zakukozesa e kisaawe kye Nakivubo okukyalizamu emipiira gyabwe season ejja 2024/25,
Express egenda kukyusa okuva mu kisaawe kye Wankulukuku kyebadde ekozesa okumala ebbanga lya myaka 33.
URA yo tebadde nakisaawe kyankalakkalira, nga season ewedde ekozesezza ebisaawe okubadde Lugazi, Kabaka Kyabaggu ne Wankulukuku.
Newankubadde ttiimu zino ziwandiisizza ekisaawe kye Nakivubo, naye FUFA eteekeddwa okusooka okuyisa ekisaawe kino mu butongole okutandika okukozesebwa mu liigi.
Uganda Premier League season ejja egenda kutandika nga 13 September,2024.
Villa Jogo Ssalongo be bannantameggwa ba liigi ya season ewedde era baawangula ekikopo kino oluvanyuma lw’ebbanga lya myaka 20 nga tebakiwangula.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe