Entiisa ebuutikidde abatuuze be Namwendwa mu district ye Kamuli, abaana babiri ababadde bazannyira mu kinnya omwasimibwa amayinja ettaka libabuutikidde.
Abaana babadde babeera ne Jjaja wabwe Nambala Miriyati 70, eranga bino webibeereddewo abadde agenze mu nnimiro.
Abatuuze okuli taata w’a baana Ibrahim Waiswa ne sentebe we kyalo Mugweri Pius bagambye nti basobodde okunyulula abaana bano, era babadde babaddusa mu ddwaliro lya Namwendwa Health Centre IV, omu Asaadi Buyinza ow’emyaka 9 naafa.
Police ye Namwendwa etuuse mu kitundu okwetegeereza embeera, era neragira ekirombe kiggalwe kubanga kifuuse kyabulabe eri abatuuze. #