Essomero lya St.James Bbiina Primary School erikutte omuliro lisangibwa Mutungo Bbiina mu gombolola ye Nakawa mu Kampala.
Omuliro gutandise ku saawa nga 3 ez’okumakya nga 31 October,2024, wabula tekinamanyika kweguvudde.
Police ezikiriza omuliro etuuse mangu okutaasa ng’omuliro tegunasaasaanira bibiina.
Police n’abatuuze balwanye butaweera okufulumya abaana bonna mu somero, era tewali muyizi yazuuliddwa na bisago bya muliro.
Meeya wa Nakawa Paul Mugambe omu kubatuuse ku somero lino agambye nti esomero lino lyerimu ku masomero amakadde e Nakawa, era awanjagidde government edduukirire esomero lino.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif