Bannauganda bangi naddala Abatwa , Abanyabindi ne Benet nga bano basangibwa mu nsozi za Elgon ne Manyagori, mu bibira byé Bundibugyo,Kisoro,Kabale náwalala nti bangi tebalina era tebalabanga ku ndagamuntu, wadde ngóbuweereza bwa government bungi bwetaagisa endagamuntu okubufuna.
Ssentebe Equal Opportunities commission Safia Nalule Jjuuko agambye nti abantu bano balekeddwa nnyo emabega mu bintu bingi, ngékiseera kituuse bafuulibwe abénkizo mu kutuusibwako obuweereza obutali bumu.
Mu nteekateeka eno, akakiiko kagala ekitongole kya NIRA kiseewo enkola eyénjawulo eyamba abantu bano okufuna endagamuntu,basomesebwe emiganyulo gyayo, bongere okutegeera ebibakwato, nóbuweereza obulala buddeko.
Agambye nti abantu bano betaaga okuyambibwa mu mbeera zonna, nti kubanga bakyalina okwetya nóbutekkiririzaamu olwémbeera gyebayiseemu ebiseera byabwe byonna ebiyise.
Omubaka akiikirira Bufumbira South mu lukiiko lw’eggwanga olukulu Alex Niyonsaba , agambye nti ssinga abantu bano tebayambibwa kimala bandifuula Uganda ekisekererwa, kwekusaba government ebeeko kyekolawo mu bwangu ddala.
Bisakiddwa: Denis Kato