Kabaka Daudi Chwa, yeyakisa omukono nga 22 November,1939.
Ssekabaka Daudi Chwa ye yali Kabaka wa Buganda owa 34.
Yalamula Obuganda wakati wa 1897 ne 1939 mweyakisiza omukono.
Entanda ya Buganda eweerezebwa butereevu ku 88.8 CBS Fm, okuva ku ssaawa nnya ez’ekiro.
Ebeerawo okuva ku bbalaza okutuuka ku lwokutaano, ng’abamegganyi baddamu ebibuuzo ebyenjawulo.
Ebibuuzo byetooloolera ku by’obuwangwa n’ennono, ebyafaayo, ebiriwo ebigenda mu maaso mu Uganda n’ensi yonna, embeera z’abantu awamu ne Tekinologiya.
Mu bamegganyi mwemuva Omuzira mu Bazira w’omwaka anaatikkirwa mu Nkuuka y’omwaka mu Lubiri e Mengo, nga 31 December,2025.#












