Omuteesiteesi omukulu mu ministry y’ebyobusuubuzi n’amakolero Geraldine Ssali yewuunyisizza ababaka abatuula ku kakiiko ka parliament akalondoola eby’obusuubuzi n’amakolero bwategeezezza nti naye abadde takimanyi nti abakozi ab’amadaala aga wansi bawebwa amafuta mangi okusinga aga bakama babwe.
Wiiki minister omukulu owa ministry eno, Francis Mwebesa ne minister omubeezi owa ministry eno Harriet Ntabazi baategezezza akakiiko ke kamu nti bbo tebafunira ddala mafuta gabatambuza okukola emirimu egyenjawulo.
Minister Francis Mwebesa ye yategeezezza nti ateekateeka kukuba government mu mbuga z’amateeka emusasule ensimbi zazze akozesa okugula amafuta gateeka mu mmotoka ya government eyamukwasibwa kyokka nga tawebwa mafuta.
ze agulamu amafuta okutambuza emmotoka ya gavument gyeyamuwa okukola emirimu gya gavument kubanga akooye okukwaatanga mu nsawo ze, okugula amafuta
Omuteesiteesi omukulu mu ministry eno Geraldine Ssali alabiseeko mu kakiiiko ke kamu ak’ebyosuubuzi okubaako byatangaaza,wabula ono ayawukanye nebigambo ebyayogerwa ba minister nti tebafuna mafuta ,agambye nti bagafuna.
Geraldine Ssali amenyemenye ensimbi zamafuta buli minister zafuna ku kaadi y’amafuta emuweebwa.
Minister omukulu Francis Mwebesa afuna amafuta ga bukadde 39, minister Ntambaazi afuna amafuta ga bukadde 51 ku kaadi ye eyamafuta ,minister David Bahati ye afuna amafuta ga bukadde 41, minister Fredrick Ngobi Gume afuna amafuta ga bukadde 43 songa ye omuteesiteesi omukulu afuna amafuta ga bukadde 37.
Ssentebbe wakakiiko kano Mwiine Mpaka bwabuuziza Geraldine Ssali ku ky’abakozi abafuna ensimbi z’amafuta ennyingi okusinga ba minister bakama babwe ,agambye nti naye awulira kippya era tamanyangako nti kibaddewo era nti naye yakiwulira nnaku ntono eziyise.
Agambye nti naye yewuunyizza abakozi abafuna amafuta amayitirivu bwagatyo kyebagakozesa.
Akakiiko kaano akalondoola ebyobusuubuzi namakolero kakyanoonyereza ku vvulugu akwata ku nsimbi eziri eyo mu buwumbi 6 ezasaasaanyizibwa okuddaabiriza ekizimbe kya ministry eno esangibwa ku luguudo Parliamentary avenue mu Kampala.
Ebyakazuulwa biraga nti container ministry eno gyeyapangisa mu bitundu bye Entebbe okuterekamu ebiwandiiko ebyali bijjiddwa ministry eno mu kiseera kyokuddaabiriza ekizimbe Kya ministry ,yapangisibwa obukadde 2 buli mwezi
Mmotoka ezasomba ebiwandiiko bino ,buli lusomba yasasulwa amafuta ga bukadde 2 buli lusomba.
Okutwaaliza awamu, obukadde 500 bwebwasaasaanyizibwa okupangisa ekifo, okusomba ebiwandiiko nebirala.