Akatuubagiro k’ensimbi keeyongedde mu kibiina ky’ebyobufuzi ki NUP oluvannyuma lw’ensala ya kkooti eyayisiddwa nga 29 November,2025 eyagobye okusaba kw’ekibiina kino, nga kyali kyagala eyimirize government okuwa ensimbi ebibiina by’obufuzi ebirina endagaano n’omukago gwa IPOD.
Omukago gwa IPOD gugambye nti oluvanyuma lwensala Eno, waliwo ensimbi endala eziri mu kakiiko kebyokulonda ezettunduttundu eryokubiri eryomwaka gwebyensimbi guno 2025 /2026 ezigenda okuweebwa ebibiina bya IPOD, wabula NUP era tegenda kuzifunako.
Omulamuzi wa kkooti enkulu Collins Achelam , yagobye okusaba kwa NUP kweyali etadde ku kkooti eno, kyali kyagala kkooti eyise ekiragiro ekiyimiriza government okuwa ebibiina byobufuzi ebirina ababaka mu parliament ensimbi.
Omulamuzi mu nsala ye, yagambye nti ensimbi ezogerwaako zagabwa dda, kale talina ngeri gyayisa kiragiro ku nsimbi ezaagabwa edda.
Akakiiko kebyokulonda kaawa ebibiina okuli NRM, UPC,FDC,Jeema ,DP ne PPP ensimbi obuwumbi 11 ezettunduttundu ly’omwaka gwebyensimbi guno 2025/2026 eryasooka, nga bye byokka ebirina endagaano n’omukago gwa IPOd ng’etteeka eppya erifuga ebibiina byobufuzi bweriragira.
NUP eyali yagaana okuteeka omukono ku ndagaano egifuula memba wa IPOD,teyafuna ku nsimbi ezo, nga n’omugabo gwaakyo ogwakawumbi 1 nobukadde 400, gwagabanyizibwa mu bibiina ebyo.
Ssenkulu w’omukago gwa IPOD Dr. Lawrence Sserwambala agambye nti nti n’omutemwa omulala ogusuubirwa okuweebwa eri ebibiina ebirina endagaano ne IPOD wiiki ejja, NUP tegenda kufuna kubanga tenafuuka memba wa IPOD
Ensonga ya NUP obutawangula musango ogwo, kyongedde okuteeka akazito ak’amaanyi ku kibiina, mu kiseera kya kakuyege w’okutalaaga eggwanga nga kinoo ya akalulu ka 2026
Mu kiseera kye kimu kyakalemererwa okuwandiisa abantu baakyo abali eyo mu 100 eri akakiiko k’ebyokulonda ku mutendera gw’obubaka bwa parliament, oluvanyuma lwokubulwa ensimbi ezokubasasulira obukadde 3 buli omu.
Ssabawandiisi w’ekibiina ki NUP Lewis Rubongoya agambye nti ekibiina nga bwekirinda omusango omunene gwekyawaaba nga bawakanya engabanya y’ensimbi za IPOD ng’ebibiina bisooka kukola ndagaano, bawanjagidde bannayuganda abamutima omulungi babakwatireko.
Emyaka 4 egiyise, ekibiina kino kibadde kyakafunayo obuwumbi 22 okuva eri akakiiko kebyokulonda.#












