• Latest
  • Trending
  • All
Eno ye Ntanda – Ssenkuba ya ggulo – Bwetaku

Eno ye Ntanda – Ssenkuba ya ggulo – Bwetaku

December 8, 2023
Omuyimbi Mesach Ssemakula yoomu ku bagenda okusoya abamegganyi ba Bbingwa 2025 ku CBS Emmanduso

Omuyimbi Mesach Ssemakula yoomu ku bagenda okusoya abamegganyi ba Bbingwa 2025 ku CBS Emmanduso

July 9, 2025
Obukulembeze obwengeri yonna bulina okufaayo eri abantu – Katikkiro Mayiga asisinkanye bannarotary aba District 9213

Obukulembeze obwengeri yonna bulina okufaayo eri abantu – Katikkiro Mayiga asisinkanye bannarotary aba District 9213

July 9, 2025
Ebibiina by’obufuzi ebitali mu IPOD tebigeenda kuweebwa nsimbi kuva mu government

Ebibiina by’obufuzi ebitali mu IPOD tebigeenda kuweebwa nsimbi kuva mu government

July 9, 2025
Vipers FC ekaansizza omuteebi Mark Yallah – munnansi wa Liberia

Vipers FC ekaansizza omuteebi Mark Yallah – munnansi wa Liberia

July 9, 2025
PFF eronze obukulembeze obuggya – Dr.Kiiza Besigye naalabula abali ku ludda oluvuganya abakozesebwa government

PFF eronze obukulembeze obuggya – Dr.Kiiza Besigye naalabula abali ku ludda oluvuganya abakozesebwa government

July 8, 2025
Pr.Dr. Maka Moses Ndimukika abadde Ssaabalabirizi w’ekanisa y’abadvent mu Uganda –  kati yaakulira obuvanjuba námasekkati ga Africa

Pr.Dr. Maka Moses Ndimukika abadde Ssaabalabirizi w’ekanisa y’abadvent mu Uganda – kati yaakulira obuvanjuba námasekkati ga Africa

July 8, 2025
Rugby Cranes etandise bubi mu mpaka za Africa Cup of Nations 2025 e Namboole

Rugby Cranes etandise bubi mu mpaka za Africa Cup of Nations 2025 e Namboole

July 8, 2025
CBS efunye engule okuva mu NEMA – lwa kulwanirira butonde bwansi

CBS efunye engule okuva mu NEMA – lwa kulwanirira butonde bwansi

July 9, 2025
Kalangala efunye ekyombo ekipya -MV ORMISTON

Kalangala efunye ekyombo ekipya -MV ORMISTON

July 9, 2025
Walusimbi Godfrey eyaliko omuzannyi wa Uganda Cranes ye mugenyi ow’enjawulo mu Bbingwa ku CBS Emmanduso

Walusimbi Godfrey eyaliko omuzannyi wa Uganda Cranes ye mugenyi ow’enjawulo mu Bbingwa ku CBS Emmanduso

July 9, 2025
President Museveni ayisizza ebiragiro ebiggya ku bantu abatankanibwa obutuuze bwabwe – okuva mu mwaka gwa 1962

President Museveni ayisizza ebiragiro ebiggya ku bantu abatankanibwa obutuuze bwabwe – okuva mu mwaka gwa 1962

July 8, 2025
Enteekateeka y’okukuza amatikkira ga Kabaka ag’omulundi ogwa 32 nga 31 July,2025 ku muzikiti  e Kibuli

Enteekateeka y’okukuza amatikkira ga Kabaka ag’omulundi ogwa 32 nga 31 July,2025 ku muzikiti e Kibuli

July 7, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Uncategorized

Eno ye Ntanda – Ssenkuba ya ggulo – Bwetaku

by Namubiru Juliet
December 8, 2023
in Uncategorized
0 0
0
Eno ye Ntanda – Ssenkuba ya ggulo – Bwetaku
0
SHARES
132
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Omutendera Kinyoolankoto mu program Entanda ya Buganda,  Boogere Richard eyafunye obugoba 25 ne Balunginsiiti Stevens eyafunye obugoba 21 baayiseewo okweyongerayo ate Kabuuka Jamiiru eyafunye obugoba 17, yawanduse

Biibino ebibuuzo by’entanda “Kinyoolankoto”;

1. Omuntu gwebaasibanga emikono mu maaso nga bamutwala ku mbuga yabanga azzizza musango ki? – Gwa kulwana

2. Ekikolwa kya Nabikande okukima omuzaana mu lubiri agende amulabirire kiweebwa linnya ki? –  Okugula Omuzaana

3. Okusiika ebinyomo kisoko, kitegeeza ki? –  Kumala budde mu bitagasa

4. Ani yawandiika omuzannyo Nnamulanda? –  Waalabyeki Magoba

5. Kyakula ndaba abulwa waazaala, amakulu ki agali mu lugero olwo? – Abantu abamu bafiirwa emikisa gyabwe lwakwekwasa busongasonga

6. Amakulu agali mu linnya Kyafubutuka eryatumwa omulongo wa Kabaka Tebuukwereke –  Yakolanga nnyo ebintu ng’apapa nga tasoose kwetegereza

7. Magezi ki agali mu kikolwa ky’obutalya nswa esooka okufuluma? – Oleme kukanga nswa, n’omuntu obutamala biseera ku nswa eba egenze

8. Ekibumbe kya Katikkiro wa Buganda ekiri ku luguudo Kampala Road – Katikkiro Michael Kawalya Kaggwa

9. Omuganda bweyalabanga omuntu nga bamusibye omugwa mu kiwato, yabanga azzizza musango ki? –  Yabanga agaanye okusasula omusolo

10. Ekisaanyizo ekikulu ekisooka okulowoozebwako mu mpisa y’okulonda Nnabikande –  Alina kuba muganda wa Nnamasole

11. Okukamulira omuntu olukoni ku liiso kisoko, kitegeeza ki? – Okukwatirwa omuntu ettima

12. Ani yawandiika Omuzannyo, Ssemitego Omuyizzi Kkungwa? – Mercy Mirembe

13. Nnajjukiranga ne nseka nga sigwebakigambye, olugero olwo lulimu makulu ki? – Abantu abamu bakudaalira nnyo mu bizibu bya bannaabwe

14. Erinnya Wazziba eryatuumwa omulangira wa Kabaka Jjemba lirimu makulu ki? – Yaziba abalangira abalala amaaso n’abalyako Obwakabaka

15. Bwoba ova okuzuuka enswa, kizira okufuluma ebweru ng’omaze okuyingira enju, Magezi ki agakirimu – Okwewala ensolo eziyinza okukutuusaako obulabe

16. Enguudo mu Kibuga Kampala ezabbulwamu amannya g’amasaza ga Buganda – Kyaddondo Road ne Kyaggwe Road

17. Waliwo lwosanga omuntu nga bamusibidde emikono emabega, aba yazzizza musango ki? –  Aba yabbye

18. Ennono y’erinnya Nnabikande – Okuggya eddagala ku lukande

19. Kakutiya okukwezingako, kisoko kitegeeza ki? –  Omuntu abeera mu njala olubeerera

20. Ani yawandiika omuzannyo Nze mbimaze –  Prisca Nakitto

21. Amakulu agali mu lugero Kiridde bwami tekibulwa nganda – Omuntu bwatuuka awalungi tabulwako bamutuukirira

22. Omulongo wa Kabaka Jjunju yamutuuma Tawutta, Magezi ki agali mu linnya eryo? – Kabaka nebwakaddiwa asigala ategeera

23. Eriiso ly’enswa tebalisonzaamu lugalo, balisonzaamu ki? – Kinonko

24. Oluguudo olwayitibwanga Southern Street, kati luyitibwa lutya? – Benedicto Kiwanuka Street

25. Omuntu okufuuka omutwalo kisoko, kitegeeza ki?   Kufa

26. Ekitembe kibalako amatembe, bwotagayita matembe ogayita otya? –  Amafuluuta

27. Kkoyi kkoyi, omwana ow’eddalu azaalibwa ddi? –  Nnaku zino

28. Olugero: Kabaka akussa owuwo –  essanja libabula endagala

29. Ababaazi balina kyebayita kaamuddiba, kyeki? –  Ye nnyama gyebasubula mu ddiba

30. Ekisaanikira ky’ensuwa? –  Ssibiiti

31. Kiki Omuganda kyayita empawa? – Ebiwaawaatiro by’ekinyonyi

32. Enjuki esooka ku ssogolero tebagiganya kudda gyevudde lwaki? –  Bweddayo eyinza okuyita endala nezijja nezitaataaganya abasogozi

33. Kabaka ki eyakuba olubiri lwe ku lusozi, Nkaawo nga buli kati ekifo ekyo kikyaliwo? – Mwanga II

34. Omuti kwebasitulira ensolo eyiggiddwa? –  Omuluumu

35. Olugero: Omulungi akunoba –  Enjala netagwa

36. Mu mirimu egikolerwa Kabaka mulimu n’ogwokuwala amaliba, mutaka ki akivunaanyizibwa ku ekyo? – Omutaka Katula

37. Ekisoko, Okukumbira omuwala kitegeeza ki? –  Okwogereza omuwala

38. Mu mpisa z’Abaganda waliwo lwebaabiza omusajja olumbe wadde nga bakimanyi nti omusajja oyo gyali mulamu, kibaawo ddi? – Ssinga omusajja yeefumbiza eri omukazi

39. Entumwa tettirwa gyebagituma, tuwe amakulu ga mirundi ebiri ag’entumwa? – Omuntu aweereddwa obubaka okubutwala awantu n’enjuki esooka ku ssogolero

40. Enjulu ezinaaluka ekibbo bazooka kuzifumba bakikola batya? –  Baziteeka mu kigogo

41. Kasooli w’empeke bwafumbibwa n’aliibwa ng’emmere aweebwa linnya ki? – Mpengere

42. Embaata z’okumazzi omuganda yaziwa linnya ki? – Ebiyoyo

43. Omuntu Omuganda gwayita Nnantabwaza yaaba atya? – Omuntu omwavu ennyo

44. Olugero: Ssenkuba ya ggulo – Bwetakuba mubbi ekuba mulogo

45. Obuvunaanyizibwa bwa Kiweewa omwana omulenzi omukulu owa Kabaka, bwe buliwa? –  Okulabirira abaana ba kitaawe abalangira n’abambejja obutatuusibwako bulabe

Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Omuyimbi Mesach Ssemakula yoomu ku bagenda okusoya abamegganyi ba Bbingwa 2025 ku CBS Emmanduso
  • Obukulembeze obwengeri yonna bulina okufaayo eri abantu – Katikkiro Mayiga asisinkanye bannarotary aba District 9213
  • Ebibiina by’obufuzi ebitali mu IPOD tebigeenda kuweebwa nsimbi kuva mu government
  • Vipers FC ekaansizza omuteebi Mark Yallah – munnansi wa Liberia
  • PFF eronze obukulembeze obuggya – Dr.Kiiza Besigye naalabula abali ku ludda oluvuganya abakozesebwa government

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist