• Latest
  • Trending
  • All
Eno ye Ntanda: Omukwano omutono – gukwegayiriza akuwerekerako nti ntuusaako wali

Eno ye Ntanda: Omukwano omutono – gukwegayiriza akuwerekerako nti ntuusaako wali

November 29, 2023
Akakiiko k’ebyokulonda kalaze nti okulonda okuwedde okw’abavubuka,abakadde n’abaliko obulemu kwatambudde bulungi n’ebitundu 99%

Akakiiko k’ebyokulonda kalaze nti okulonda okuwedde okw’abavubuka,abakadde n’abaliko obulemu kwatambudde bulungi n’ebitundu 99%

June 22, 2025
Buddu ekubye Gomba 1 : 0 – mu mupiira ogugguddewo empaka z’Amasaza 2025

Buddu ekubye Gomba 1 : 0 – mu mupiira ogugguddewo empaka z’Amasaza 2025

June 21, 2025
Kooti ejulirwamu enywezezza ekibonerezo ekyaweebwa Wamala Godfrey Troy eyasingizibwa ogw’okutta omuyimbi Mowzey Radio

Kooti ejulirwamu enywezezza ekibonerezo ekyaweebwa Wamala Godfrey Troy eyasingizibwa ogw’okutta omuyimbi Mowzey Radio

June 20, 2025
Kooti ejulirwamu enywezezza ekibonerezo ekyaweebwa Wamala Godfrey Troy eyasingizibwa ogw’okutta omuyimbi Mowzey Radio

Eyaliko Supreme Mufti Sheik Suliman Ndirangwa afudde

June 20, 2025
Kooti ejulirwamu enywezezza ekibonerezo ekyaweebwa Wamala Godfrey Troy eyasingizibwa ogw’okutta omuyimbi Mowzey Radio

CBS@29 – Abakozi ba CBS abakyasiinze okuweereza emyaka emingi mu CBS baweereddwa amayinja ag’omuwendo okubasiima

June 20, 2025
Kooti ejulirwamu enywezezza ekibonerezo ekyaweebwa Wamala Godfrey Troy eyasingizibwa ogw’okutta omuyimbi Mowzey Radio

Ppulogulamu za CBS Emmanduso nga bwezikyusiddwa

June 20, 2025

Urban Zone programe empya ku CBS Emmanduso 89.2

June 20, 2025
Kooti ejulirwamu enywezezza ekibonerezo ekyaweebwa Wamala Godfrey Troy eyasingizibwa ogw’okutta omuyimbi Mowzey Radio

Ebijaguzo bya CBS FM ng’ejaguza emyaka 29

June 20, 2025
Omuteesiteesi omukulu mu by’ensimbi Ramathan Ggoobi awadde bannauganda bettanire eby’obulimi n’obulambuzi – benogere ku nsimbi ezaayisiddwa mu mbalirira y’eggwanga 2025/2026

Omuteesiteesi omukulu mu by’ensimbi Ramathan Ggoobi awadde bannauganda bettanire eby’obulimi n’obulambuzi – benogere ku nsimbi ezaayisiddwa mu mbalirira y’eggwanga 2025/2026

June 19, 2025
Ssaabasumba Paul Ssemogerere atongozza ebijaguzo eby’emyaka 100 egya eklezia Lutikko eye Lubaga

Ssaabasumba Paul Ssemogerere atongozza ebijaguzo eby’emyaka 100 egya eklezia Lutikko eye Lubaga

June 19, 2025
Mu ppuloggulaamu Kkiriza oba Ggaana ku 89.2 – Omuteesiteesi omukulu Ramathan Ggoobi wakunnyonyola embalirira y’eggwanga 2025/2026 kyetegeeza eri ekitundu kyo

Mu ppuloggulaamu Kkiriza oba Ggaana ku 89.2 – Omuteesiteesi omukulu Ramathan Ggoobi wakunnyonyola embalirira y’eggwanga 2025/2026 kyetegeeza eri ekitundu kyo

June 19, 2025
Government ya Uganda esazeewo okuyita mu mawanga ag’omuliraano ne Iran ne Israel – okununula bannauganda abakoseddwa olutalo oluli mu mawanga ago

Government ya Uganda esazeewo okuyita mu mawanga ag’omuliraano ne Iran ne Israel – okununula bannauganda abakoseddwa olutalo oluli mu mawanga ago

June 18, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

Eno ye Ntanda: Omukwano omutono – gukwegayiriza akuwerekerako nti ntuusaako wali

by Namubiru Juliet
November 29, 2023
in BUGANDA
0 0
0
Eno ye Ntanda: Omukwano omutono – gukwegayiriza akuwerekerako nti ntuusaako wali
0
SHARES
108
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

 

Mu program Entanda ya Buganda eya nga 28 November,2023.ku Cbs 88.8 abamegganyi; Ndawula Patrick eyafunye obugoba 26 ne Kiberu Kizito Kamya eyafunye obugoba 24 baasuumusiddwa okweyongerayo ku mutendera oguddako, ate Nanteza Grace eyafunye obugoba 10 yawanduse.

Biibino ebibuuzo by’Entanda.

1. Omukiise w’Olukiiko lwa Buganda olukulu eyafudde ssabbiiti ewedde yaziikiddwa ku kyalo ki? –  Maya

2. Mpa amakulu amakusike ag’olugero: Bwolaba omukulu afungizza ng’omanya nti kaagoba kaamaanyi – Bwolaba omuntu yeeyunira ekintu omanya nti kirina omugaso

3. Emiwendo gino giteeke mu bigambo. 1331003 –  Akakadde kamu mu emitwalo asatu mu esatu mu lukumi mu ssatu

4. Mpa emigaso ebiri egy’ebyobuwangwa-. Bituyamba okumanyagana n’okutugatta mu bika era bituyamba okukuza olulimi lwaffe

5. Amakulu g’ekisoko: Okukulukuta omwoyo – Okusaalirwa

6. Ani yawandiika ekitabo Tutontome mpola? –  Thomas Kagera

7. Omutaka akwata empeewo ennamu Kabaka gyasookera ddala okuyigga yeddira ki? – Nseenene

8. Kizira okukwata mu kiseke kya kizibwe wo, kiki ekyagendererwa mu muzizo guno? – Okuziyiza abaana obutasobya wakati w’abenganda

9. Ssabbiiti ewedde waliwo omukiise w’Olukiiko lwa Buganda eyafudde, mpaayo amannya ge asatu –  Owek. Joyce Ronvincer Mpanga

10. Amakulu g’olugero: Embuga terimba –  Tusaana okussa ekitiibwa mu bakulembeze

11. Emiwendo gisse mu bigambo 551,103   – Emitwalo ataano mu etaano mu lukumi mu kikumi mu ssatu

12. Mpaayo ebintu bibiri ebireeta obuwangwa okukyuka? –  Eddiini engwira n’abantu abaamawanga amalala abajja mu Buganda

13. Okuba n’essanyu ery’enfiira kisoko kitegeeza ki? –  Omuntu okufuna essanyu ate amangu ddala n’afuna ennaku

14. Ani yawandiika ekitabo Abaganda ab’edda? –  Dr Adam Kimala

15. Mwotassubi yoomu ku bakuuma Nnamulondo yeddira ki? – Nkima.l

16. Makulu ki agali ku bulombolombo obungi obuli ku mujjwa ne Kojjaawe? – Aleme kuboolebwa

17. Omukiise w’Olukiiko lwa Buganda olukulu eyafudde yabadde akiikirira kitundu ki? –  Yabadde mukiise wa Ssaabasajja Kabaka

18. Amakulu g’olugero: Bwolaba emmese eruma omutwalo ng’obunnya ewezezza. – Bwolaba omuntu aliko kyakola omanya nti aliko kyeyeeyinula

19. Emiwendo gino giteeke mu bigambo. 121000/05 – Emitwalo kkumineebiri mu lukumi ne ssente ttaano

20. Mpaayo ebintu bibiri ebikyuse mu buwangwa bw’abaganda byomanyi mu Buganda? – Okusamira kusaanyiziddwawo n’okwalula abaana tekukyajjumbirwa

21. Okuwuga ennyanja ensiikuufu, kisoko kitegeeza ki? – Kugumira mu bizibu n’otaggwamu maanyi

22. Ani yawandiika ekitabo Kitikyamuwogo? –  Kaddu Ssunda

23. Abakuba akadinda mu lubiri bava mu kika ki eky’abaganda? – Njovu

24. Makulu ki agali mu muzizo guno, abaana abakuze tebagenda mu kisenge kya bakadde babwe? –  Kwewala kubalwaza buko

25. Enzikiza ekutte be?  – Be Ppo

26. Mu muzannyo gw’okuwuga okwennono mulimu ekigambo Omukaya, kitegeeza ki? – Omuwuzi nnakinku

27. Mu mpisa enganda wasimbwawo eddagala nga lyakugema babbi, liweebwa linnya ki? – Omuwambo

28. Olugero: Omukwano omutono – gukwegayiriza akuwerekerako nti ntuusaako wali

29. Nnamalere aliko obulwadde bweyajjanjabanga, era bwamuyatiikiriza nnyo, bulwadde ki? –  Kawumpuli

30. Omuwala bwafumbirwa gyafumbiddwa tafunayo luganda, afunayo ki? – Lulubuna

31. Olusaka lwa Nnamasole wa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II lusangibwa wa? –  Bbumbu Kyaddondo

32. Ku lubiri lw’e Mengo kuliko omuzigo ogutunudde e Kibuye, Omukuumi waagwo aweebwa linnya ki? –  Ssaabagabo

33. Enju gyosookerako ng’oyingira mu Masiro ga Ssekabaka Muteesa I eweebwa linnya ki? –  Bujjabukula

34. Amakulu g’ekigambo okufuuwa nga weesiga ku ebyo byokka ebirina amakulu amaweeweevu mu matu g’omuganda – Okujjula kwekintu n’okukuma mu Kyoto

35. Olugero: Genkanyenkanye  – Y’amala atoma

36. Oluusi embidde bagiyubuluzaamu ebitundu bibiri, Omuganda ebitundu yabiwa linnya ki? –  Empagala

37. Enkofu tezibuuka, zikola ki? –  Zibuuka bibanda

38. Mugoziita bwaba ayogereza omukazi, Kabaka n’akola ki? –  Kabaka n’alaalira

39. Mu mpisa z’okwabya olumbe mubaamu ebigambo bino, Kaaba mukaddewo yafa. Ebigambo ebyo ani abyogera? –  Jjajja Omukazi azaala taata

40. Mu muzannyo gw’omweso mubaamu empiki, empiki ezo ziba mmeka awamu? – 64

41. Okusenya ku kintu kisoko, kitegeeza ki –  Okulyako akatono ekintu nekisigalawo kinene

42. Omunnyo tegukaawa, gukolaki?  – Gutungununa

43. Olugero: Kaasammeeme – ng’ekirega ku lukakaba.

44. Ani akuba engoma Ggwanga mujje? – Omuntu yenna aba atuukiddwako obuzibu

45. Amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo olwala –  Olwala oluli ku ngalo n’ewansi w’ekitimba nga kitegeddwa.

Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Akakiiko k’ebyokulonda kalaze nti okulonda okuwedde okw’abavubuka,abakadde n’abaliko obulemu kwatambudde bulungi n’ebitundu 99%
  • Buddu ekubye Gomba 1 : 0 – mu mupiira ogugguddewo empaka z’Amasaza 2025
  • Kooti ejulirwamu enywezezza ekibonerezo ekyaweebwa Wamala Godfrey Troy eyasingizibwa ogw’okutta omuyimbi Mowzey Radio
  • Eyaliko Supreme Mufti Sheik Suliman Ndirangwa afudde
  • CBS@29 – Abakozi ba CBS abakyasiinze okuweereza emyaka emingi mu CBS baweereddwa amayinja ag’omuwendo okubasiima

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist