• Latest
  • Trending
  • All
Eno ye Ntanda : Lukya kamwa – Nerusigala ku mwoyo

Eno ye Ntanda : Lukya kamwa – Nerusigala ku mwoyo

November 30, 2023

Abantu 4 bafudde oluvannyuma lw’okulya ennyama y’ente egambibwa nti yabadde yafudde bufi

August 12, 2026

Ministry y’ebyenjigiriza n’ekitongole ky’eddembe ly’obuntu bitandise okutuusa obuweereza obwenjawulo ku bantu nga biyita ku mutimbagano

August 12, 2026

Parliament eragidde minister w’ebyobulamu mu wiiki emu okwanjula enteekateeka ekoleddwa ku by’ensako y’abasawo abakyagezesebwa

August 12, 2026
Ministry y’ebyenjigiriza n’ekitongole ky’eddembe ly’obuntu bitandise okutuusa obuweereza obwenjawulo ku bantu nga biyita ku mutimbagano

Government etongozza kaweefube w’okuzimba ebifo mu malwaliro gaayo omuterekebwa amabeere agaweebwa abaana abawere – n’okuluηηamya ku by’endiisa

August 12, 2026

Minister Barugahare ayisizza ebiragiro 7 eri government ez’ebitundu – omwenge gwakutandika okutundibwa ku ssaawa mwenda ez’emisana

August 12, 2026
Judiciary to Resolve 1,424 Commercial Cases worth Shs325 Billions through mediation

Judiciary to Resolve 1,424 Commercial Cases worth Shs325 Billions through mediation

August 11, 2026
Watoto Church ne Rotary club ya Kampala Ssese Island bawaddeyo obukadde bwa shs 131 kukugula eddwaliro eriseeyeyeza ku mazzi – ab’Oluwalo nabo bakiise n’obukadde 60

Watoto Church ne Rotary club ya Kampala Ssese Island bawaddeyo obukadde bwa shs 131 kukugula eddwaliro eriseeyeyeza ku mazzi – ab’Oluwalo nabo bakiise n’obukadde 60

August 12, 2026
Tom Ikara mu butongole yegasse ku club ya AFC Leopards eya Kenya

Tom Ikara mu butongole yegasse ku club ya AFC Leopards eya Kenya

August 11, 2026
Abantu 21 bebaakakwatibwa ku by’okutemula David Owor – abadde Captain wa Villa Jjogo

Abantu 21 bebaakakwatibwa ku by’okutemula David Owor – abadde Captain wa Villa Jjogo

August 11, 2026

Ebbeeyi y’amafuta eziηηamizza enguudo ezikolebwa ne project za government endala

August 10, 2026

A Congolese Cashier committed to high court over failure to declare 1.59m US Dollars before entering Uganda

August 10, 2026

Okulonda obukiiko bw’emiruka kutambudde bulungi – abamu ku baasuulibwa ku byalo balondeddwa ku miruka

August 10, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

Eno ye Ntanda : Lukya kamwa – Nerusigala ku mwoyo

by Namubiru Juliet
November 30, 2023
in BUGANDA
0 0
0
Eno ye Ntanda : Lukya kamwa – Nerusigala ku mwoyo
0
SHARES
201
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Boogere Richard yafunye obugoba 32  ne Balunginsiiti Stevens eyafunye obugoba 18 baasuumusiddwa okweyongerayo mu lumeggana oluddako, ate Nsubuga Hassan eyafunye obugoba 14 yawanduse.

Biibino ebibuuzo by’Entanda ebya nga 29 November,2023 ku CBS FM 88.8.

1. Tereeza ssentensi mu luganda olutuufu. Omusituzi w’akalira ka Kabaka ye Kimbugwe –  Omukongozzi w’Omulongo wa Kabaka ye Kimbugwe

2. Amakulu g’olugero Ennindiriza yamezza ssemitego –  Ng’onookola ekintu tokikandaaliriza

3. Abalimi ba lumonde balina ekigambo Amayingo, kitegeeza ki? –  Lumonde omunene abalira mu bukata obutono

4. Emigaso gy’embwa nga gyekuusa ku buwangwa bwa Buganda – Eyigga ate muziro

5. Ekigaji kikaawa be – Be kka

6. Ani yawandiika ekitabo Omuzimu gwa Kasooba? – Namutete Kawere

7. Omuganda ow’omulembe guno ayinza atya okulwanyisa envunza? – Ng’atandaaza mu nju ye ne cement n’okunaaba entakera

8. Magezi ki agali mu kutangira omukazi ali olubuto obutalya gonja? – Kubanga bwamulya ayinza okuggwawo ate ng’ayakozesebwa okuzibikira ekkundi

9. Tereeza ssentensi, Mutabani wa muwala wa Kabaka agenze – Ssaava agenze

10. Amakulu g’olugero, Emmeeme etejuuba ekwogeza munno kyatalyerabira –  Tetusaana kwogera binyiiza bannanffe nga webali

11. Nnamuluuta mu lumonde kitegeeza ki? –  Lumonde akuze ng’atuuse okuliibwa

12. Enjawulo wakati w’ekikuuno n’ensole – Ekikuuno ky’ekibinja ky’embwa nga ziri mu ddembe ate ensole akabwa akato akaakakuula amannyo

13. Eggumba limenyese bbe – Be ttwa

14. Ani yawandiika byotamanyi ku Yesu? –  Kasawuli Richard

15. Mpa ebintu bibiri ebiva mu kulumwa envunza –  Embaliga n’amaga

16. Abaganda baziza nti omukazi owolubuto tateekwa kuyomba, lwaki? –  Nti omwana gwanaazaala naye ajja kuba omuyombi

17. Tereeza ssentensi mu luganda. Tugenda kukkyalira Kabaka enkya –  Tugenda Kulanya ewa Kabaka

18. Anakulu g’olugero: Gwosussa emmwanyi omusanga ku Mayanja nga yawungula –  Kyamagezi oobutanyooma muntu yenna

19. Mannywangwa mu lumonde kitegeeza ki? –  Lumonde owa kyemeza

20. Ebintu bibiri ebiwanuuzibwa ku mbwa – Mbu embwa okuzibula ku kyalo kusooka kufaako muntu

21. Nneeyiyeeko amazzi nga gannyogoga be –  Be nnyogonnyogo

22. Ani yawandiika ekitabo Ebitontome ebyensibo? –  Ssemwanga Kivumbi Bantubalamu

23. Engeri ez’ennono mu kulwanyisa envunza –  Okumaala ennyumba n’okuzitundula

24. Lwaki abaganda batangira omukazi owolubuto okubuuka olusalosalo –  Ayinza okuseerera n’agwa

25. Ssinga omuntu akutuma olusaggo lw’ensimbi, otegeera nti akutumye ki? – Ensimbi Enganda nga ziri ku luwuzi

26. Ab’eddira omutima omusaji, akabbiro kaabwe kekaliwa? – Muzibiro

27. Olugero:Munno atunda nti nze ngula  – Nti ekimutunza  okimanyi?

28. Mu bitundu by’e Ntebe eriyo amasiro, mbuulira Kabaka nnyini masiro ago n’ekitundu kwegasangibwa –  Kabaka Buganda e Lunnyo

29. Mpaayo ebigambo bibiri nga bisobola okutegeeza ekikolwa ky’okuziika omuliro –  Okuvumbika, Okukoomera

30. Aboosi b’akasana balina akasana kebayita ensonoonsi, Erinnya Nsonoonsi liggwayo litya? –  Nsonoonsinkya

31. Okulaaliza enkonyogo, kisoko kitegeeza ki?  –  Okulaama

32. Omuganda omuntu gwayita entakula manda yaaba atya? –  Omuntu awakulawakula entalo

33. Emmeeme okukuba ejjebe –  Kusanyuka nnyo

34. Bikalubitaaka, kitegeeza ki? – Emmere y’omuttaka n’ejjinja ly’omukyoto

35. Olugero: Embuzi ekogga – Nnyini yo n’agisanga

36. Omuzizo ogudda ku mazzi agassibwa mu mubisi ogugenda okubikkibwa? – Tegajjibwa  ku nzizi zanjawulo

37. Omuzizo ku lumonde eyekweka mu lwaliiro –  Taliibwa nnyinimu

38. Omwana azaalibwa ng’alina ekiba ku mubiri aweebwa linnya ki? – Mpuuga

39. Mu nsinza y’Abaganda ey’ennono mulimu ekigambo Ekiggu, kitegeeza ki?  – Omuggo gw’omulubaale

40. Kkoyi kkoyi, Enku zaakala nezibulako atyaba –  Amayembe g’ente

41. Obulo obusibiddwa awamu buyitibwa butya? –  Empu

42. Olugero: Lukya kamwa – Nerusigala ku mwoyo

43. Walugongo mu nsolo z’omunsiko –  Omusu ogusigala ku nsiko ogumu gwokka

44. Empologoma enkazi ekola eddoboozi, eddoboozi eryo liyitibwa litya – Okuwuunuuna

45. Obutiko Omuganda bwayita Mpeefu, bumera mu kifo kya ngeri ki? – Bumera ku kiswa ekisejjere

Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Abantu 4 bafudde oluvannyuma lw’okulya ennyama y’ente egambibwa nti yabadde yafudde bufi
  • Ministry y’ebyenjigiriza n’ekitongole ky’eddembe ly’obuntu bitandise okutuusa obuweereza obwenjawulo ku bantu nga biyita ku mutimbagano
  • Parliament eragidde minister w’ebyobulamu mu wiiki emu okwanjula enteekateeka ekoleddwa ku by’ensako y’abasawo abakyagezesebwa
  • Government etongozza kaweefube w’okuzimba ebifo mu malwaliro gaayo omuterekebwa amabeere agaweebwa abaana abawere – n’okuluηηamya ku by’endiisa
  • Minister Barugahare ayisizza ebiragiro 7 eri government ez’ebitundu – omwenge gwakutandika okutundibwa ku ssaawa mwenda ez’emisana

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist