• Latest
  • Trending
  • All
Eno ye Ntanda 2024 : Akaganda akatono – kakira omukwano

Eno ye Ntanda 2024 : Akaganda akatono – kakira omukwano

November 16, 2024
Government ereese enteekateeka y’okuteeka ennamba ku buli nnyumba – ewomeddwamu omutwe ekitongole kya Posta Uganda

Government ereese enteekateeka y’okuteeka ennamba ku buli nnyumba – ewomeddwamu omutwe ekitongole kya Posta Uganda

August 4, 2026
Nnaabagereka Naginda atongozza ekisaakaate 2027 – kyakutegekebwa Gayaza Junior School

Nnaabagereka Naginda atongozza ekisaakaate 2027 – kyakutegekebwa Gayaza Junior School

August 4, 2026
Abantu 14 bafiiridde mu kabenje akagudde mu Lwera – Sinotruck esaabadde Taxi

Abantu 14 bafiiridde mu kabenje akagudde mu Lwera – Sinotruck esaabadde Taxi

August 4, 2026

Police ekutte ba ddereeva ba bus 51 abagambibwa okuvuga ebidduka nga tebalina bisaanyizo

August 3, 2026

Kampuni ya CICCO ekola oluguudo olwa Kira-Kasangati-Matugga – eweereddwa nsalesale wa July 2027 nga luwedde

August 3, 2026

Kooti esingisizza abantu 9 emisango gy’okutta Susan Magara

August 3, 2026

Kaliisoliiso wa government awakanyizza eky’okuyimbula abakozi ba parliament ku kakalu kaayo – bavunaanibwa emisango gy’obulyake n’obukenuzi

August 3, 2026
PFF ewandiikidde Ssaabalamuzi w’eggwanga ku nsonga za Dr.Kiiza Besigye

Uganda ewangudde emidaali 3 mu Commonwealth Games 2026 e Glasgow Scotland

August 3, 2026
PFF ewandiikidde Ssaabalamuzi w’eggwanga ku nsonga za Dr.Kiiza Besigye

PFF ewandiikidde Ssaabalamuzi w’eggwanga ku nsonga za Dr.Kiiza Besigye

August 3, 2026
PFF ewandiikidde Ssaabalamuzi w’eggwanga ku nsonga za Dr.Kiiza Besigye

Brig. Gen Asaph Mweteise Nyakikuru alondeddwa okukola ng’omuduumizi w’eggye erikuuma president erya SFC

August 3, 2026

Government ya Uganda eteekateeka kuzimba ssundiro ly’amasannyalaze e Ntinda

August 3, 2026
Kyaggwe ne Butambala zongedde okwenywereza ku ntikko y’ebibinja mu mpaka z’amasaza ga Buganda 2026 –

Kyaggwe ne Butambala zongedde okwenywereza ku ntikko y’ebibinja mu mpaka z’amasaza ga Buganda 2026 –

August 3, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Archive

Eno ye Ntanda 2024 : Akaganda akatono – kakira omukwano

by Namubiru Juliet
November 16, 2024
in Archive
0 0
0
Eno ye Ntanda 2024 : Akaganda akatono – kakira omukwano
0
SHARES
113
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Program Entanda ya Buganda eya 15 November, 2024 ku 88.8 ne CBS FM UG ku Youtube, yabadde muliro muliro, Omumegganyi Ssemyalo Herbert yawandukidde mu maanyi n’obugoba 20 antiMale John Kawuma yamusinzi n’akagoba kamu kokka, ye yafunye 21 olwo ye Male ne Kalyango Faruk eyafunye obugoba 26 nebasuumusibwa.

Biibino ebibuuzo by’Entanda;

1. Mu ba Kabaka ba Buganda Ssekabaka Daudi Cchwa II yeyasookera ddala okulambulako mu nsi za Bulaaya, yamalayo bbanga ki? ………Emyezi etaano.

2. Olugero: Lubaale maliba…….. Buli omu alyambala bubwe.i

3. Omwana omuto anywa ddi emmindi okusinziira ku kuwanuuza kw’Abaganda? ………Bwaba anuuna ekigalo.

4. Olubuuya kye ki?……………… Ebyennyanja ebikaziddwa omusana.

5. Akatiko akamera mu ggwatiro kaweebwa linnya ki?………………. Nnakifanjagala.

6. Omuntu ayinza okupaatiikibwako erinnya eririmu ekigambo nswa, kikolwa ddi era omuntu oyo aba atya? Nswazaluguudo,……………………. Omukyala eyeegalabanja.

7. Amakulu g’ekisoko. Okutunula omuntu mu mutwe………………….. Kumunyooma.

8. Erinnya lya Nnamasole wa Kabaka eyagenda e Bwayi?……………………… Baagalaayaze.

9. Kojja wa Kabaka ayitibwa Masimbi, erinnya Masimbi lirina makulu ki? ………….Wa muwendo ng’ensimbi.

10. Olugero: Wootonnava………………. Toyonoona mu kisulo.

11. Ddi omwana lweyeeriisa enkuuli?……………… Bwaba atandiikiriza okuyiga okulya n’aliira engalo wezitandikira.

12. Ekigambo amakayabu kitegeeza ki? ……………….Ekyennyanja ekiziddwa mu munnyo.

13. Enjawulo mu bigambo Okwaya n’okwayira. …………………..Okwayira kutwalira nsolo byakulya ate okwaya kyekiseera abatabaazi webaba banoonyeza eby’okulya.

14. Akatiko Omuganda kaatafumba wabula akassa mu kitole ky’ettooke nekajjiira omwo………….Akassukussuku.

15. Ekisoko Okugwa mu mboozi………………… Okweyingiza mu mboozi y’abali nga ate tebakwetaagamu.

16. Erinnya lya Nnamasole wa Kabaka eyassaawo empisa y’omuko n’omukadde amuzaalira omukyala buli omu okudduka munne? ………………….Nnamulondo.

17. Lwaki muka kojjaawo omuyita jjajja? ………………Kubanga abaana baazaala mbayita maama.

18. Olugero: Kyewajja okulaba okyekkaanya………….. Omunya gwekkaanya munyale.

19. Omwana ayonka ng’agalabanja emmere, kino kibaawo ddi?…………. Ayonka tafaayo nnyo.

20. Ekigambo mwolo kitegeeza ki mu balunnyanja? …………….Ekiseera ebyennyanja webibeerera ebitono mu nnyanja.

21. Akatiko akamere webasogolera omubisi kaweebwa linnya ki?……………… Nnassogolero.

22. Amakulu g’ekigambo Embuutu………………. Engoma ezikubwa ku mukolo gwessanyu n’ekitu okutemerwa ennyama mu bbuca.

23. Ekisoko. Okukwata omuntu nabyo………………… Okugwikiriza omuntu ng’akwogerako.

24. Nnamasole eyawera abantube okukyamira ku kibuga………………… Kannyange

25. Okuba omutaka w’e Namataba kisoko, yaani? ……………..Mulindwa.

26. Ebisolo bibiri kwebajja maliba gebazinisa amazina amaganda………… Embuzi ya zigeye n’engeye.

27. Mu nnono buli muntu aba n’amaanyi amatonde agamulungamya, omuganda agayita atya? …………Kalondoozi.

28. Ekisolo ekiba n’amaggwa ku ddiba lyakyo……………… Nnamunnungu.

29. Olugero: Tovumirira egwa wala… ………..Bwezza emmere osakirayo.

30. Eriiso ly’ekiswa terisongwamu lunwe, lisongwamu ki?………… Kinoko.

31. Program Entanda ya Buganda yatandika mu mwaka ki? ………..2003.

32. Kabaka alina amannya mangi agooleka ekitiibwakye, nga Ccuucu, erinnya eryo liggwayo litya? ……..Ccuucu olusubi olusajja nnantasiba muge.

33. Mukazi w’Omulangira ayitibwa muzaana, ssinga bba w’Omuzaana oyo afa, ayitibwa linnya ki? ……..Asigala ayitibwa Muzaana.

34. Olugero: Akulabira mu masanganzira…. Akuyita muyise.

35. Erinnya egganda eriva mu lugero nga lifaana n’erya Bayibuli, linnya ki? ………….Lukka.

36. Akabonero ka Uganda kaliko ensolo, ensolo eyo erina bukulu ki?…….. Kutegeeza nti eggwanga lijjudde eby’obulambuzi.

37. Erinnya Kiweewa lirina bukulu ki mu Balangira ba Buganda?…………. Liweebwa omwana omulenzi Kabaka gwasoose okuzaala.

38. Olusaka lwa Nnamasole wa Ssekabaka Mwanga II lusangibwa mu ssaza ki?…………. Kyaddondo.

39. Omusajja bwabeera n’obulago, olwo omukazi n’abeera naki? ………….Nsingobiseera.

40. Okufa kw’Omulangira Omugadanda akuyita atya?………….. Okuzaama.

41. Tuweeyo ekigambo ekirala nga kitegeeza langi ya bbululu……………. Kaniki.

42. Buli muganda aba n’amaanyi ag’obutonde agatalabika, Ani atembeeta amaanyi ago? ……….Omulongo w’omuntu oyo.

43. Tandika olugero: Kakira omukwano…………… Akaganda akatono.

44. Essaza lya Buganda mwebatandise okunnyikiza obulimi bwa ppamba, lyeririwa……… Mawokota.

45. Olusaka lwa Nnamasole wa Ssekabaka Daudi Cchwa II lusangibwa ku kyalo ki? ……..Kanyanya.

Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K.

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Government ereese enteekateeka y’okuteeka ennamba ku buli nnyumba – ewomeddwamu omutwe ekitongole kya Posta Uganda
  • Nnaabagereka Naginda atongozza ekisaakaate 2027 – kyakutegekebwa Gayaza Junior School
  • Abantu 14 bafiiridde mu kabenje akagudde mu Lwera – Sinotruck esaabadde Taxi
  • Police ekutte ba ddereeva ba bus 51 abagambibwa okuvuga ebidduka nga tebalina bisaanyizo
  • Kampuni ya CICCO ekola oluguudo olwa Kira-Kasangati-Matugga – eweereddwa nsalesale wa July 2027 nga luwedde

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist