Mu program Entanda ya Buganda ku 88.8 nga 30 Mukulukusabitungotungo, 2024 weyaggweredde ng’abamegganyi; Ssempijja Nyansio eyafunye obugoba 26 ne Kizito Tonny eyafunye obugoba 17 baasuumusiddwa okweyongerayo ku mutendera oguddako olwo Musiitwa Benidicto eyafunye obugoba 08 yawanduse.
Biibino ebibuuzo by’Entanda;
1. Akabbiro k’abeddira Enseenene…… Nnabangogoma.
2. Akulira ekitongole Ekyamula mu lubiri aweebwa linnya ki? ……Omwamuzi.
3. Olugero: Ensimbi zaabula… Atuula waka.
4. Tereeza ssentensi, Abantu abaafunye akabenje bonna baafudde…… Abantu abaagudde ku kabenje bonna baafudde.
5. Ekisoko Okugumaza Embiro kitegeeza ki?…… Kudduka ng’obadde wazzizza omusango.
6. Olutabaalo Kabaka Ssuuna mweyakisiza omukono lwatuumwa linnya ki? …..Ddekabusa.
7. Omuntu omukulu asaba ddi omwana omuto ssente mu buwangwa? ……Ssinga omwana oyo omusanga ng’alina amalibu.
8. Ku mukolo gw’okusamira kubaako omuntu akola guno na guli, aweebwa linnya ki?……. Nnakatagala.
9. Akabbiro k’abeddira Entalaganya….. Maleere.
10. Ekitongole ekyamula kirina mulimu ki mu Lubiri?…… Kyekivunaanyizibwa ku ngoye za Ssaabasajja.
11. Enjawulo wakati w’ebigambo, Ekyogero n’ekyogo…….. Ekyogero kibaamu eddagala erinaazibwa omwana omuwere ate ekyogo kyekyo omuntu omukulu ky’anaaba okufuna emikisa.
12. Olugero: Nnalwemanyidde…. Ng’omukadde atabaaza embazzi.
13. Tereeza Ssentensi, Bwomala geejaabaata emikisa gy’okukwatibwa ssiriimu mingi….. Bwewejaabaata akatyabaga k’okufuna ssiriimu kakutuuse.
14. Kabaka Ssuuna II yakubwako ku Laddu, ani yamuvumula? ……Kigemuzi.
15. N’omwana omuwere awoza, awoza ddi?. …… Bwatandika okuvaamu eddoboozi ng’aweza emyezi ng’ebiri oba esatu.
16. Olusamira Olusooka luyitibwa lutya? …..Kwaza lubaale.
17. Akabbiro k’abeddira Empindi. Kiyindiru.
18.
19. Enjawulo wakati w’ekibungu n’olubungu…….. Ekibungu ye mwana atannamera mannyo ate Olubungu ye muntu omukulu eyaggwamu amannyo.
20. Olugero: Omulangira Ngo, Bwekula n’evuuma.
21. Tereeza ssentensi. Enkuba eyatonnye jjo, yabaddemu kibuyaga…… Enkuba eyatonnya jjo yalimu kibuyaga.
22. Ekintu okubeera eby’emmunye kisoko, kitegeeza ki? …..Ekintu okuba nga kyabwereere.
23. Ebika by’emmere ebizira okuwa omwana nga tannayogera……. Balugu n’endaggu.
24. Waliwo oluusi Emmandwa lwesaba empoomereze, eba esaba ki?……. Mubisi musogolerewo.
25. Mu mpisa y’ensi tetugamba nti Ssaalongo afudde, tugamba tutya?…… Nti yeewungudde.
26. Embeera emu eyagaananga abasajja okuwasa kyokka nebataba ndawule……. Ssinga aba asiigiddwa mu lubiri.
27. Ani nnyina wa Kibuuka Omumbaale?….. Nnagaddya.
28. Olugero: Obubaka simutwalo… ……Nga gyebamutumye ayagalayo.
29. Effumu Ssekabaka Nnakibinge lyeyalwanyisanga yalituuma linnya ki?……. Kawawakuzunga.
30. Ekikolwa ky’okukungula ebinyeebwa kiweebwa linnya ki? …..Kusola.
31. Enva ezitalina kubula ku mukolo gwa kufumbya…… Akatiko akabaala.
32. Engalabi eyitibwa Ttimba na kati ekyakuumibwa mu Ngoma za Kabaka, Kabaka ki eyagireeta?…… Kabaka Kimera.
33. Ani yali Katikkiro wa Buganda mu kiseera Obote weyasaanyizaawo Obwakabaka? …..Owek. J Mayanja Nkangi.
34. Ekisoko. Okusindiaka asitamye kitegeeza ki?….. Okutuma omuntu omulimu gwabadde ayagala.
35. Mu Buganda mulimu omutaka gwebayita Omukuuma Balangira, yaani? Omutaka Kasujju Lubinga.
36. Ekifo Nkoni kirina bukulu ki mu Bwakaba bwa Buganda?…… Waliyo Olubiri lwa Kabaka.
37. Olugero: Mutunda bikadde…. Tatunda bbanja.
38. Ebikoola by’ekimera ekiyitibwa Ekibo, biweebwa linnya ki? …..Ebibo.
39. Waliwo Kabaka abantu gwebaayagala ennyo nebamutuuma erinnya Nnantalinnya ku kateebe?…… Ssuuna II
40. Enju omusula endiga eyitibwa etya? …..Ekisibo.
41. Olugero: Obuteebuuza… Butambuza amazzi ekiro.
42. Ekisoko, okulukira omuntu omugomo kitegeeza ki? ……Kuteekateeka mwana akule nga mulungi.
43. Engoma ya Mujaguzo enkza eyitibwa etya. Nnamanyonyi.
44. Ejjinja Kkungu lisangibwa mu ssaza ki?…. Kyaddondo.
45. Omutuba ogulikonobukoola obwanjule guweebwa linnya ki?….. Butana.
Bitegekeddwa Kamulegeya Achileo. K