• Latest
  • Trending
  • All
Eno ye Ntanda 2024 : Kinywa kyamaggwa –  Akisiba yamanya bw’akyetikka

Eno ye Ntanda 2024 : Kinywa kyamaggwa – Akisiba yamanya bw’akyetikka

November 27, 2024

Akakiiko k’ebyokulonda kalangiridde olwa nga 28 July,2026 okulonderako obukiiko bw’ebyalo – kwakusiimba mu mugongo

June 22, 2026
22 June,1996 – kati gy’emyaka 30 beddu nga CBS ekuweereza amawulire,omuziki n’ebikuziimba

22 June,1996 – kati gy’emyaka 30 beddu nga CBS ekuweereza amawulire,Omuziki n’ebikuzimba

June 22, 2026
Buddu etandise nabuwanguzi ekubye Buluuli 2 -1 mu Mpaka z’Amasaza 2026

Buddu etandise nabuwanguzi ekubye Buluuli 2 -1 mu Mpaka z’Amasaza 2026

June 21, 2026
Joseph Sseruwooza abadde munnamawulire wa BBS Telefayina aziikiddwa e Rakai

Joseph Sseruwooza abadde munnamawulire wa BBS Telefayina aziikiddwa e Rakai

June 21, 2026

IPOD ewandiikidde NUP eteekeyo okusaba kwayo mu butongole yegatte ku mukago – mulimu akakwakkulizo ka president wakyo Robert Kyagulanyi Ssentamu yekka yakkirizibwa okussa omukono ku ndagaano

June 20, 2026
Abadde omukozi wa BBS Terefayina Joseph Sseruwooza bamutenderezza ng’omukozi abadde ow’embala- bamusabidde mu lutikko e Lubaga

Abadde omukozi wa BBS Terefayina Joseph Sseruwooza bamutenderezza ng’omukozi abadde ow’embala- bamusabidde mu lutikko e Lubaga

June 20, 2026
Kisembo Paddy owa NRM awangudde akalulu k’okuddamu okulonda ssentebe wa district ye Kikuube

Kisembo Paddy owa NRM awangudde akalulu k’okuddamu okulonda ssentebe wa district ye Kikuube

June 19, 2026
Ebyava mu kukebera endagaluse z’omuyimbi omugenzi Paul Job Kafeero n’abaana be byakulangirirwa nga 25 June,2026

Ebyava mu kukebera endagaluse z’omuyimbi omugenzi Paul Job Kafeero n’abaana be byakulangirirwa nga 25 June,2026

June 18, 2026
Okulonda ssentebe wa district ye Kikuube – obuuma bu biometric machines bwebukozeseddwa

Okulonda ssentebe wa district ye Kikuube – obuuma bu biometric machines bwebukozeseddwa

June 18, 2026

Ssalongo Erias Lukwago president wa PFF agguddwako omusango gw’okumanya ku nteekateeka z’abaali bagala okulya olukwe mu government naatagibuulirako – asindikiddwa ku alimanda e Luzira

June 17, 2026
Abantu 8 bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo lwe Kyotera – 4 baddusiddwa mu ddwaliro

Abantu 8 bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo lwe Kyotera – 4 baddusiddwa mu ddwaliro

June 17, 2026
Court  orders New Park Lockup Owners Association to compensate 2 traders billions of shillings 

Court  orders New Park Lockup Owners Association to compensate 2 traders billions of shillings 

June 17, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Archive

Eno ye Ntanda 2024 : Kinywa kyamaggwa – Akisiba yamanya bw’akyetikka

by Namubiru Juliet
November 27, 2024
in Archive
0 0
0
Eno ye Ntanda 2024 : Kinywa kyamaggwa –  Akisiba yamanya bw’akyetikka
0
SHARES
132
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Ebibuuzo by’Entanda nga bwebyabuuziddwa nga 26 November,2024 ku CBS 88.8 Ey’obujjajja ku mutendera Kajjampuni abalagadde mu bbwa.

1. Abavubi balina ekikolwa ky’omumiimya, kitegeeza ki?…… Omuvubi okukwata ekyennyanja ekito n’akizza mu mazzi.

2. Okubeera ng’emmese enkwatire ku mawolu kisoko, kitegeeza ki? …Okukukwatira mu kikolwa kyennyini eky’okusobya.

3. Ttimba ye muserikale w’engoma za Kabaka era Kabaka Kimera yeyajja nayo, ani yagimutonera?….. Omutaka Kidimbo.

4. Olugero: Ekyalo ekivuddeko omumanye…. Okiraza mumwa.

5. Omulangira Daudi Chwa okuzaalibwa, Kabaka Mwanga II teyali ku kibuga, tuwe amannya g’omuntu eyatwalira Kabaka Mwanga amawulire nti azadde? ……Zaakayo Luutu Naggwanvu.

6. Ani yawandiika ekitabo omuli omuntu Lupaapiira?……. G Mukasa (Tokiiya Ngonge nto)

7. Emitwalo amakumi ana mu musanvu mu kakaaga mu kikumi mu ataano… 476,150/=.

8. Erinnya lya Ssenkulu wa BBS Terefayina….. Eng. Patrick Ssembajjo.

9. Abavubi beeyambisa ebyambo mu mulimu gwabwe, ekyambo kye ki? …..Ebissi byebateeka ku malobo.

10. Okukola eggulumu kisoko, kitegeeza ki?….. Okunyooma bakamaabo nga baliko kyebakulagidde.

11. Olugero: Ekisuula entabi… Kyekikuwa entindira.

12. Munnaddiini eyabatiza Kabaka Daudi Chwa II….. Rev AJ Pike.

13. Amannya g’omuwandiisi w’ekitabo omuli Jeetu ne Jane……. MB Nsimbi (Bonna baasumagira)

14. Emitwalo amakumi asatu mu esatu m kasanvu mu bisatu mu ataano…… 337,350.

15. Erinnya lya Ssenkulu wa Nnaabagereka Development Foundation…… Adrian Andrew Mukiibi.

16. Ebika by’Abaganda bibiri ng’akabbiro kaabyo nga kayozi…… Omusu n’Empeewo.

17. Olugembya mu lulimi lw’abalunnyanja kye ki? …..Amasavu g’emmamba.

18. Okubeera eddenge kisoko, kitegeeza ki?….. Kitegeeza butabaamu makulu.

19. Mu mujaguzo mulimu engoma enkulu ssatu, Kabaka ki eyaleega Kawulugumo mu mujaguzo?…. Mutebi I

20. Olugero: Enkaliriza…Y’eriisa enkoko y’omugenyi.

21. Kabaka Daudi Chwa II yalina omuzungu eyamusomesanga, yaani?…… Situlooko.

22. Amannya g’omuwandiisi w’ekitabo omuli abantu; Suzaana, Kaawonawo?…… Kalinda (Bazibumbira)

23. Emitwalo kinaana mu etaano mu lukumi mu biriri mu ataano….. 851,250

24. Amannya ga Ssenkulu wa BUCADEF……. Omuk. Alfred Bakyusa.

25. Emirundi mingi nnyo obutiko bwawano bubeera n’akakwate n’enswa, tubuulire obutiko obulina akakwate ne Ggudu?…. Mbobya.

26. Ebika by’emiti bibiri ebibeera okumpi n’awaka nga gizira okufumbisibwa?…… Eppaapaali n’omuyaji ne omuwaanyi.

27. Nnaabagereka linnya kkulu nnyo wano mu Buganda, lyasookera ku ani?…. Nnaabagereka Irene Drusila Namaganda.

28. Olugero: Ssegulira emmandwa etuule… Nga byeyamulagula byatuukirira.

29. Omuntu gwebagamba nti alima kikuula ddima, omuntu oyo yaatya?…. Omuntu omunafu.

30. Mu lulimi oludda ku nswa mulimu ekigambo okummula, okummula kye ki?….. Embeera y’ekiswa okussaako ettaka eppya.

31. Ekisoko okutwala omuntu nga biwala ttaka kitegeeza ki? …..Okutwala omuntu mu mbeera embi naddala nga mulwadde.

32. Amannya abiri ag’ennono gooyinza okukozesa okutegeeza ensawo y’Omuganda….. Endyanga oba enfulebe.

33. Enju ya Kabaka mu lubiri mwakuumira Omulongo we…… Enjoga.

34. Omutaka asiigira Kabaka Omuzaana ayitibwa Kaddulubaale….. Omutaka Kinyolo.

35. Okukuba omuntu enkata kisoko, kitegeeza ki? ….Okuwa omuntu ekintu ekirungi.

36. Bwolya kaamulali omuka togamba nti akwokezza, ogamba otya?….. Ambaaladde.

37. Olugero: Kinywa kyamaggwa… Akisiba yaamanya bwakyetikka.

38. Omwami eyayitibwanga Kiggi, yaaliwa?…. Omukulu w’amakomera mu Buganda.

39. Mu lubiri lwa Kabaka mu nda mubaamu ekyoto, kiyitibwa kitya? ….Ekyolwotezo.

40. Erinnya Nnaalinnya kkulu nnyo mu bitiibwa bya Buganda, lyasookera ku ani?… Omumbejja Damali Nkinzi.

41. Empungu yayodde akamyu kaffe be…… Kkwa.

42. Mu Buganda ekitiibwa ky’obulamuzi kyasooka kuweebwa ani ow’amaanyi?…Stanislaus Mugwanya.

 

43. Olugero: Enkumbi okubula … Ewa munafu mpoza.

44. Kabaka eyatongoza omulimu gw’obukomazi mu Buganda. ….Kabaka Kimera.

45. Okuba n’ogwa Nanteza kisoko ekitegeeza okuba n’omukisa ogutafunika, tuwe ennono yaakyo…… Yazaala abalangira babiri era bonna nebalya Obwakabaka.

Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Akakiiko k’ebyokulonda kalangiridde olwa nga 28 July,2026 okulonderako obukiiko bw’ebyalo – kwakusiimba mu mugongo
  • 22 June,1996 – kati gy’emyaka 30 beddu nga CBS ekuweereza amawulire,Omuziki n’ebikuzimba
  • Buddu etandise nabuwanguzi ekubye Buluuli 2 -1 mu Mpaka z’Amasaza 2026
  • Joseph Sseruwooza abadde munnamawulire wa BBS Telefayina aziikiddwa e Rakai
  • IPOD ewandiikidde NUP eteekeyo okusaba kwayo mu butongole yegatte ku mukago – mulimu akakwakkulizo ka president wakyo Robert Kyagulanyi Ssentamu yekka yakkirizibwa okussa omukono ku ndagaano

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist