• Latest
  • Trending
  • All
Eno ye Ntanda 2024: Ekitali kyogere – Kizimba ku mwoyo

Eno ye Ntanda 2024: Ekitali kyogere – Kizimba ku mwoyo

November 7, 2024
President Museveni alayiziddwa ku kisanja ekyomusanvu 2026/2031 – alangiridde nti kisanja no sleep no corruption

President Museveni alayiziddwa ku kisanja ekyomusanvu 2026/2031 – alangiridde nti kisanja no sleep no corruption

May 12, 2026
Yogaayoga Katikkiro Charles Peter Mayiga okuweza emyaka 13 ng’okuuma Ddamula

Yogaayoga Katikkiro Charles Peter Mayiga okuweza emyaka 13 ng’okuuma Ddamula

May 12, 2026

Ebimu ku birambikiddwa mu kulayiza president Yoweri Kaguta Museveni ku kisanja eky’omusanvu 2026/2031

May 12, 2026
Abasirikale 8 bavunaaniddwa gwakulagajjalira mirimu – ekyaviirako ababbi okubalabiriza nebayingira era nebabba ebintu bya bank of Uganda

Abasirikale 8 bavunaaniddwa gwakulagajjalira mirimu – ekyaviirako ababbi okubalabiriza nebayingira era nebabba ebintu bya bank of Uganda

May 11, 2026
Abasirikale 8 bavunaaniddwa gwakulagajjalira mirimu – ekyaviirako ababbi okubalabiriza nebayingira era nebabba ebintu bya bank of Uganda

Abadde Commissoner wa parliament Mathias Mpuuga Nsamba yebazizza abantu b’e Masaka olw’okumwesiga emyaka 15 ng’abakiikirira mu parliament

May 11, 2026
Tewakyali muntu akkirizibwa kusaalimbira mu Bugoma Forest nga ssi mulambuzi – ababadde baakyesenzaako government ebalagidde okukyamuka bunnambiro tewali kubaliyirira

Tewakyali muntu akkirizibwa kusaalimbira mu Bugoma Forest nga ssi mulambuzi – ababadde baakyesenzaako government ebalagidde okukyamuka bunnambiro tewali kubaliyirira

May 10, 2026

Abantu 6 bafiiridde mu kabenje akagudde e Gomba

May 9, 2026
Police ekutte 2 abagambibwa okumenya ekitebe kya Bank of Uganda mu Kampala – Laptop 2 zezaakazuulwa

Police ekutte 2 abagambibwa okumenya ekitebe kya Bank of Uganda mu Kampala – Laptop 2 zezaakazuulwa

May 8, 2026
Electoral Commission erangiridde olwa nga 24 June,2026 okuddamu okulonda omubaka omukyala owa district y’e Kalangala

Electoral Commission erangiridde olwa nga 24 June,2026 okuddamu okulonda omubaka omukyala owa district y’e Kalangala

May 8, 2026
Government yetondedde bannauganda olw’amasannyalaze agavavaako – UEDCL eyongedde okukola enkyukakyuka mu baddukanya emirimu

Abaluηηamya b’emikolo balambikiddwa ku ntambuza y’emikolo gy’ennono – bakomye katemba mu mikolo gy’okwanjula

May 7, 2026

Emipiira gy’empaka z’ebika by’Abaganda zongezeddwayo

May 7, 2026
Government yetondedde bannauganda olw’amasannyalaze agavavaako – UEDCL eyongedde okukola enkyukakyuka mu baddukanya emirimu

Government yetondedde bannauganda olw’amasannyalaze agavavaako – UEDCL eyongedde okukola enkyukakyuka mu baddukanya emirimu

May 7, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Archive

Eno ye Ntanda 2024: Ekitali kyogere – Kizimba ku mwoyo

by Namubiru Juliet
November 7, 2024
in Archive
0 0
0
Eno ye Ntanda 2024: Ekitali kyogere – Kizimba ku mwoyo
0
SHARES
67
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Mu Program Entanda ya Buganda ku 88.8 Ey’obujjajja nga 5 Museenene (November), 2024, abamegganyi;  Ssemiyingo Ibrahim eyafunye obugoba 28 ne Bugembe Nasur eyafunye obugoba 24 baasuumusiddwa okweyongerayo mu lumeggana oluddako, ate Kasagga Robert eyafunye obugoba 15 yawanduse.

Biibino ebibuuzo by’Entanda;
1. Oluwanja kikwanaganye n’omulimu gw’obuvubi…… Ekifo webaanika mukene.

2. Okuwandiika ekigambo Eddekende. ……Edde-ke-nde.

3. Ebiryo by’ensujju bwebyeyambisibwa mu mukolo ogw’ekuusa mu kufa biweebwa linnya ki? ……. Empambo.

4. Olugero: Ekyange kimaza bbiri…..… Yaaliwa ogw’omugenyi.

5. Ani yawandiika Ekitabo Omulangira Nuuhu Mbogo? ……Hasfa Nakabiri ne Mustafa Mutyaba.

6. Omukazi bw’azaala omwana omuwala n’amufaanana kiweebwa linnya ki? ……..Kweyoza mu nda.

7. Amakulu g’ekisoko: Emizimu gy’omuntu okuba nga tegyebase…….. Omuntu okufuna obuzibu n’abuvaamu mangu.

8. Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yabikka ddi akabugo omulundi ogw’okubiri?…… 1971.

9. Ekigambo Omufumo kikwanaganye n’omulimu gw’obuvubi……..Ekituli omuyita amazzi negayingira mu lyato.

10. Gattulula ekigambo Omulyolyomi……..
Omu-lyo-lyo-mi

11. Okufa okuyitibwa okwewungula kwekuliwa?….. Ssinga Ssaalongo aba y’afudde tugamba nti yeewungudde.

12. Olugero:Ofunda ne ndikuzaaya……..N’otabeera na ndikutta.

13. Ani yawandiika akatabo Bonna baasumagira?…. MB Nsimbi.

14. Okunaaba omuntu kisoko, kitegeeza ki?….. Okuzaala omwana omulenzi n’afaanana nnyo kitaawe.

15. Emirimu okukuliirako oluuyi kisoko……Emirimu kubeera mingi.

16. Munnaddiini ki eyabatiza Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II? Omwawule Kasujja Gwembuga.

17. Ekigambo Taboya mu buvubi kitegeeza ki?….. Mukene omuvundu.

18. Gattulula ekigambo Eggwatiro……. Eggwa-ti-ro

19. Embeera omuganda waakulisiza banne nti mukulike omutemu nga yeekusa ku kufa…… Ssinga omuntu aba yeetuze.

20. Olugero: Nnamusava owoolumu… Takukuuza muyaji gwo.

21. Ani yawandiika akatabo Amaka gaba Wansolo?….. Kranima Kalinda.

22. Waliwo omwana omuganda gwayita Ngozi, yaaba atya? …..Omwana omuwala eyafaanana ennyo nnyina.

23. Ekisoko:  Eyookuvviivi okuba nga tekyasaka….. Omuntu okukoowa ennyo nga n’enjala emuluma.

24. Omwaka Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II weyalwanira olutalo lw’ebirumbirumbi…. 1993

25. Ekisenge kya nnyinimu kiweebwa linnya ki?…. Ggandalyassajja.

26. Olugero: Kwata noowaayo… Ngayasikira bisikire.

27. Ekitonde nga bwekiremererwa okudduka ku mulabe kikwekako mutwe gwokka?….. Mmaaya.

28. Amasaza ga Buganda abiri omuli amasiro ga ba Ssekabaka abasukka mu omu……. Kyaddondo ne Busiro.

29. Bwosanga omukazi ng’abikka enswa omulamusa otya?….. Tebamulamusa.

30. Akabonero ka Buganda kaliko Engoma erina bukulu ki?….. Etegeeza nti abantu ba Uganda balina ebyobuwangwa era babikkiririzaamu.

31. Abasogola embidde n’ebigere basobola okukikola mu ngeri bbiri, ziriwa? …..Bateeka amabidde mu lyato oba olutyatya.

32. Kizira omukazi owoolubuto okutunula mu ntaana, lwaki?….. Omwana gwazaala taziba kawompo.

33. Omukazi akulira effumbiro ly’omulubiri ery’abakazi……. Nakasala.

34. Tuwe erinnya eddala lyoyinza okutegeeza amaaso ga Wamala……. Amalongojje.

35. Ekika ky’emmere ekyataasa nga ennyo abaganda ensi bweyagwangamu enjala ng’emmere ebulidde ddala, mmere ki? ……Kaama.

36. Emmere bweba eyokya nnyo Omuganda agamba nti agifumbye yagifumbye ayomba, kira ki kyebawanuuza…….. Nti kubali ku lujjuliro kuliko baabadde bategekedde.

37. Olugero: Ekitali kyogere… Kizimba ku mwoyo.

38. Omuzira mu Bazira w’Entanda ya Buganda 2008, yafuna ettaka. Liri luddawa?…… Nsangi Busiro.

39. Enguuli mu lulimi oludda ku bisolo kitegeeza ki?…. Enjovu enkadde.

40. Omwana omuwere bwabooga, nnyina afuna obubaka, bubaka ki? ……Nti omwana aba ajja kugejja.

41. Okukwata omwaliiro kisoko kitegeeza ki?…. Byokola okutambula obulungi.

42. Engoma ezitendereza omutonzi tebakuba nkube, bazikola ki?……. Baziwuunya.

43. Mu bantu abavunaanyizibwa ku kiwu kuliko n’omukazi, aweebwa linnya ki?……. Nnakijoba.

44. Omuzira mu Bazira Ronald Mulondo yafunawa ettaka? ………Bbombo Kalule.

45. Olugero: Baamutta…….. Akira yafa.

Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • President Museveni alayiziddwa ku kisanja ekyomusanvu 2026/2031 – alangiridde nti kisanja no sleep no corruption
  • Yogaayoga Katikkiro Charles Peter Mayiga okuweza emyaka 13 ng’okuuma Ddamula
  • Ebimu ku birambikiddwa mu kulayiza president Yoweri Kaguta Museveni ku kisanja eky’omusanvu 2026/2031
  • Abasirikale 8 bavunaaniddwa gwakulagajjalira mirimu – ekyaviirako ababbi okubalabiriza nebayingira era nebabba ebintu bya bank of Uganda
  • Abadde Commissoner wa parliament Mathias Mpuuga Nsamba yebazizza abantu b’e Masaka olw’okumwesiga emyaka 15 ng’abakiikirira mu parliament

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist