• Latest
  • Trending
  • All

Eno ye Ntanda 2024 : Alaba amalinnya – Talaba makka

October 25, 2024

Uganda etuunze emmwanyi eziweza trillion 8.3 ku katale k’ensi yonna mu mwaka gw’ebyensimbi 2025/2026

July 13, 2026
Ensoke egoyezza abe Nakibanga mu Kalangala – esudde amayumba n’emiti

Ensoke egoyezza abe Nakibanga mu Kalangala – esudde amayumba n’emiti

July 13, 2026
Ministry ya Kampala eyimirizza ba kansala bonna abalina emisango mu kooti – obuteewola sente mu bank nga basingayo emisaala gya government

Ministry ya Kampala eyimirizza ba kansala bonna abalina emisango mu kooti – obuteewola sente mu bank nga basingayo emisaala gya government

July 13, 2026
Butambala yeyongedde amaanyi nekulembera ekibinja – mu mpaka z’amasaza ga Buganda 2026

Butambala yeyongedde amaanyi nekulembera ekibinja – mu mpaka z’amasaza ga Buganda 2026

July 12, 2026
Eggaali y’omukka etomedde bus ebadde etwala abayizi ba Mwebaze High school okulambula – omusomesa afiiriddewo

Eggaali y’omukka etomedde bus ebadde etwala abayizi ba Mwebaze High school okulambula – omusomesa afiiriddewo

July 10, 2026
Auto Draft

Nnyiga *165*4*4# oweeyo kyonna kyosobola – Okuwagira omulimu gw’okuzimba ekifo ku Nkozi Hospital ewajjanjabirwa abagudde ku bubenje

July 10, 2026
Kaliisoliiso Dinner 2026 etongozeddwa ku ddwaliro e Nkozi – kaweefube wakwongera kusomesa bantu okulwanyisa obubenje bwoku nguuudo

Kaliisoliiso Dinner 2026 etongozeddwa ku ddwaliro e Nkozi – kaweefube wakwongera kusomesa bantu okulwanyisa obubenje bwoku nguuudo

July 9, 2026
Muwanga Kivumbi eyali omubaka wa Butambala ayiimbuddwa ku kakalu ka kooti – awerennemba na misango gya Butujju

Muwanga Kivumbi eyali omubaka wa Butambala ayiimbuddwa ku kakalu ka kooti – awerennemba na misango gya Butujju

July 9, 2026
Parliament ekkiriza ababaka ba NRM okubaga ebbago ly’etteeka erifuga Parliament – okukyusa ennonda y’akulira oludda oluvuganya government

Parliament ekkiriza ababaka ba NRM okubaga ebbago ly’etteeka erifuga Parliament – okukyusa ennonda y’akulira oludda oluvuganya government

July 8, 2026
Parliament ekkiriza ababaka ba NRM okubaga ebbago ly’etteeka erifuga Parliament – okukyusa ennonda y’akulira oludda oluvuganya government

KCCA FC ekaansizza omuwuwuttanyi Yunus Sibira – okuva mu Kitara FC

July 8, 2026
Police ekakasizza abantu 14 bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu

Police ekakasizza abantu 14 bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu

July 8, 2026
President Museveni aweerezza ba minister be okukiika embuga – okutema empenda ez’okukolera awamu ne Buganda mu by’enkulaakulana

President Museveni aweerezza ba minister be okukiika embuga – okutema empenda ez’okukolera awamu ne Buganda mu by’enkulaakulana

July 8, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Archive

Eno ye Ntanda 2024 : Alaba amalinnya – Talaba makka

by Namubiru Juliet
October 25, 2024
in Archive
0 0
0
0
SHARES
54
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Olumeggana lwa Program Entanda ya Buganda olwa nga 24 October,2024 olwabadde olwa Vvaawo-mpitweo, abamegganyi Ndawula Patrick eyafunye obugoba 26 ne Basajjamivule John eyafunye obugoba 25 baasuumusiddwa okweyongerayo mu lumeggana oluddako ate Kabali Fred eyafunye obugoba 21 yawanduse.
Biibino ebibuuzo by’Entanda;

1. Tuweeyo embeera emu eyinza okuviirako olumbe olubadde lugenda okwabizibwa nerukwatibwa…….. Ssinga wabaawo obutakwatagana mu bamulekwa.

2. Amannya ga minisita wa Kabaka avunaanyizibw aku by’obulimi……. Owek. Hamiss Kakomo.

3. Olugero: Alaba amalinnya……. Talaba makka.

4. Mpa alidduka aliddayo mu Kyaddondo, ekisoko ekyo kiri mu mubala gwa kika ki? …….Nvuma.

5. Engo ebeera emabega g’ekiswa ng’erya enswa, eweebwa linnya ki?………… Kabuuya.

6. Kakutiya obubanja kisoko, kitegeeza ki? ……………….Njala kukuluma nnyo.

7. Erinnya lya Lubaale Musoke eddala………., Ssemunywa.

8. Amannya ag’omukulembeze wa Uganda eyalondebwa mu kulonda okwasookera ddala wano mu Uganda. ……….Benidicto Kiwanuka.

9. Amakulu g’oluseke oluzibikivu olubeera mu ndeku eweebwa omusika. ……………Lukiikirira omwana ataakaaba ow’omusika.

10. Amannya ga minisita wa Kabaka avunaanyizibwa ku nzirukanya y’emirimu ne techinologia………… Owek Twaha Kaawaase.

11. Olugero: Agalabagana gatyangana………………. Agambejja ne Mugema.

12. Kivu kujja kuluma n’okutwalana, ekisoko ekyo kiri mu mubala gwa kika ki?………………..Musu.

13. Ezange zandibuuse, buziina bwa mukadde. Ebigambo ebyo byogerwa ddi…………… Byogerwa ssinga omussi w’eswa agamba nti ekigaanye enswa ze okubuuka, kuwunya kwa buziina bwa mukadde.

14. Okukirako embwa eridde nnumba kisoko, kitegeeza ki?………………. Kuba mukambwe nnyo.

15. Erinnya eddala erya lubaale Kawumpuli. ………………..Sserukeera.

16. Okulonda okwasooka mu Uganda kwaliwo mu mwaka ki? ………………..1961.

17. EMMWANYI EZIWEEBWA ABASIKA ZIRINA BUKULU KI? Ziba zitegeeza nti omusika alina okugabulanga abantu abanajjanga mu nju eyo.

18. Amannya ga minisita wa Kabaka ow’obuwangwa, ennono, embiri, olulimi oluganda n’ebyobulambuzi?………. Owek. Dr. Anthony Wamala.

19. Olugero: Agafunda…………………Gadda mu mwalo.

20. Bakyanja nkete, ekisoko kino kiri mu mubala gwa kika ki? ……………….Ngonge.

21. Oyawula otya enswa ensejjere ku nswa endala zonna bwozisanga nga zitambua? …………..Ensejjere zitambula bbiri ate nga zikikinazza obubina.

22. Abantu obutaagala kisereke kisoko, kitegeeza ki? …………………..Abantu abatayagaliza bannaabwe.

23. Waliwo ejjembe erimanyiddwa nga nnanyini mpingu, liweebwa linnya ki? …………………Lubowa.

24. Omwaka omwalonderwa president wa Uganda eyasookera ddala. 1963.

25. Olugero: Agenekera………………… Atuma assa.

26. Mu byafaayo bya Buganda mulimu Katikkiro akyasinze okulwa ku bukulu obwo, yaani?……………. Sir Apollo Kaggwa.

27. Okukuba omuntu enfuka kisoko kitegeeza ki? ……………..Kukola kintu ekitiisa omulabewo.

28. Ekiti kwebaleega eddiba kiryoke kifuuke engoma kiweebwa linnya ki? ……………Omulugwa.

29. Omuzaana eyakuuma Obuganda nga bba abulidde mu lutabaalo, yali wa kika ki? ………………….Ngo.

30. Kojja wa Kabaka omutongole aweebwa linnya ki? ………………..Ssaabaganzi.

31. Kiffene kyavudde wagggulu nekingwira omulundi gumu be…………………..Ddu.

32. Ku mubiri gw’omuntu kuliko ekitundu ekiyitibwa ekizigo, kyekiriwa? …………….Ekiba ekiddukavu ku bbeere ly’omukyala.

33. Omuntu bw’akugamba nt baasuze ku kigalamiro, otegeera ki? …………………Okusuza abaafiiriddwa.

34. Mu kifo webaweeseza mubaamu olweyo, lukolwa mu ki? ………………..Byayi.

35. Ekisoko okwesiba ekimyu kitegeeza ki? ………………Kwetegekera mbeera nzibu.

36. Ssaabagabo wa Buganda yaani?……………….. Mukwenda.

37. Olugero: Gaamulubaale……………….Osiima olabyeko.

38. Ekifo ente weziguugira omunnyo kiyitibwa kitya?…………………Engugo.

39. Enjuki esooka okugenda webasogola amabodde tugiyita titya?……………. Entumwa.

40. Okumulisa kw’obutiko tuyita tutya? ………………..Okuyiwa enkanja.

41. Kkoyi kkoyi, enkoko y’abato, …………………kyoya kyayo.

42. Olugero: Ekirwa mu mutwalo……………….Kiwumba

43. Amannya abiri g’omusajja eyavumbula okukomaga olubugo mu Buganda……………. Wamala ne Kaboggoza.

44. Ekyalo okuli amasiro ga Kabaka Kikulwe. …………….Kaaliiti.

45. Ekisoko, okulya omuntu ekimuli kitegeeza ki? …………….Okuyingira mu mboozi y’omuntu.

Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Uganda etuunze emmwanyi eziweza trillion 8.3 ku katale k’ensi yonna mu mwaka gw’ebyensimbi 2025/2026
  • Ensoke egoyezza abe Nakibanga mu Kalangala – esudde amayumba n’emiti
  • Ministry ya Kampala eyimirizza ba kansala bonna abalina emisango mu kooti – obuteewola sente mu bank nga basingayo emisaala gya government
  • Butambala yeyongedde amaanyi nekulembera ekibinja – mu mpaka z’amasaza ga Buganda 2026
  • Eggaali y’omukka etomedde bus ebadde etwala abayizi ba Mwebaze High school okulambula – omusomesa afiiriddewo

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist