Parliament ekkiriza Omubaka wa Mityana South Richard Lumu agende mu maaso n’nteekateeka y’okubaga ennoongosereza ezetaaga okukolebwa mu tteeka erirungamya entambuza y’emirimu mu parliament, erya Administration of Parliament’s Act 2024.
Ebbago lino ligenderera okulungamya engeri akulira oludda oluvuganya government mu parliament n’abakulembeze abalala mu parliament gyebasaanye okulondebwamu n’engeri gyebagyibwa mu bifo singa wabeerawo obwetaavu.
Ssemateeka w’eggwanga owa 1995 eyakolebwamu ennongosereza mu mwaka gwa 2005, ezaakomyawo ebibiina by’obufuzi ebingi zasaawo Offiisi y’akulira oludda oluvuganya government mu parliament mu nnyingo eye 82 A
Akulira oludda oluvuganya government alondebwa ekibiina ekisinga ababaka abangi mu parliament ,wabula etteeka lyerimu terirambika ngeri ndala gyagibwa mu wofiisi ng’ogyeeko ekibiina ekyamulonda okumukyusa.
Omubaka Richard Lumu agambye nti mu tteeka lya Administration of Parliament’s Act, ayagala ekibiina ekibeera kisinga ababaka mu parliament kisindiikenga amannya mu parliament, olwo ababaka bonna ab’oludda oluvuganya mu parliament babakubeko akalulu nga bwekiri ku nnonda ya sipiika wa parliament, omumyuka we.
Richard Lumu ennoongosereza zino azanjudde mu lutuula lwa parliament oluyindira mu kisaawe kya Kaunda grounds e Ggulu, nategeeza nti mukakafu ennongosereza mu tteeka lino zakuyamba okutereeza ebyasoba mu ntambuza y’emirimu mu parliament.
Kinnajjukirwa nti ennoongosereza zezimu, zaali zaatwaalibwa mu parliament eye 10, eyali omubaka wa munisipaali ye Kabaale Andrew Aja Baryayanja eyali akulira ababaka abatalina bibiina byabufuzi n’omubaka wa Busiro Owek Medard Lubega Ssegona okutereeza omuwaatwa gwegumu.
Wabula parliament eye 10 yagwako ng’etteeka lino teriyisiddwa kati likomezeddwawo mu parliament eye 11.
Omubaka Lumu bw’abadde ayanjula enteekateeka z’okubaga ebbago ly’etteeka lino, mubaka munne Okin Ojara asoose kumusiimbira ekkuuli ng’agamba nti siyasaanidde okuzikola, wabula amyuka Ssaabawolereza wa government Jackson Kafuuzi n’awabula nti tewali nsonga emugaana kwanjula bbago lino.#